Add parallel Print Page Options

(A)Kuno kwe kusiiba kwe nalonda;
okusumulula enjegere ezinyigiriza abantu,
    n’okuggyawo emiguwa gy’ekikoligo,
n’okuta abo abanyigirizibwa,
    n’okumenya buli kikoligo?
(B)Si kugabira bayala ku mmere yo,
    n’okusembeza abaavu abatalina maka mu nnyumba yo;
bw’olaba ali obwereere, n’omwambaza
    n’otekweka baŋŋanda zo abeetaaga obuyambi bwo?
(C)Awo omusana gwo gulyoke guveeyo
    gwake ng’emmambya esala, era okuwonyezebwa kwo kujje mangu;
obutuukirivu bwo bukukulembere,
    era ekitiibwa kya Katonda kikuveeko emabega.

Read full chapter