Add parallel Print Page Options

(A)Emabega w’enzigi zammwe
    we muteeka ebibumbe eby’obuwemu bye musinza.
Mwandeka ne mukola eby’obuwemu
    mu bitanda byammwe ebigazi.
Eyo gye mweyambulira ne mukola endagaano
    n’abo be mwagala be muleeta mu bitanda byammwe.
(B)Ne weekuba kalifuuwa omuyitirivu
    ng’ogenda okutwala amafuta ag’omuzeeyituuni ewa Moleki katonda wo,
n’otuma ababaka bo ewala ennyo banoonye bakatonda,
    kumpi batuuke n’emagombe.
10 (C)Amakubo go gonna gakuteganya ne gakukooya nnyo
    naye teweegamba nako nti,
‘Nteganira ki atalina kyeŋŋanyurwa?’
    Singa tewanoonya bikuzaamu maanyi, wandizirise.

Read full chapter