Isaaya 55:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Kubanga mulifuluma n’essanyu
ne mugenda mirembe,
ensozi n’obusozi nabyo
ne bitandika okuyimba nga bibalabye,
n’emiti gyonna
ne gitendereza n’essanyu.
Zabbuli 96:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Mutegeeze amawanga gonna nti Mukama y’afuga.
Ensi nnywevu, tewali asobola kuginyeenyaako;
Mukama aliramula abantu mu bwenkanya.
Zabbuli 98:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)byonna biyimbe mu maaso ga Mukama,
kubanga ajja okulamula ensi.
Aliramula ensi mu butuukirivu;
aliramula amawanga mu bwenkanya.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.