Añadir traducción en paralelo Imprimir Opciones de la página

Abalumwa Ennyonta Bayitibwa

55 (A)“Kale mujje,
    mmwe mwenna abalumwa ennyonta, mujje eri amazzi.
Mujje mmwe abatalina ssente zigula,
    mujje muweebwe bye mwagala,
envinnyo oba amata ebitali bya kugula
    ebitaliiko miwendo gya kusasula.

Read full chapter

(A)Lwaki musaasaanya ensimbi zammwe ku ebyo ebitali bya kulya
    muteganira ebyo ebitakkusa?
Mumpulirize, mumpulirize n’obwegendereza mulye ebyo ebirungi,
    emmeeme yammwe eneesanyuka nnyo.

Read full chapter

(A)Balina omukisa abalumwa enjala olw’obutuukirivu
    kubanga abo balikkusibwa.

Read full chapter

(A)Okulangirira omwaka gwa Mukama
    ogw’okulabiramu obulungi bwe;
olunaku lwa Mukama olw’okuwalanirako eggwanga
    era n’okuzzaamu amaanyi abo bonna abakungubaga.

Read full chapter

    (A)Okugabirira abo bonna abali mu Sayuuni abakungubaga,
okubawa engule ey’obubalagavu mu kifo ky’evvu,
    n’amafuta ag’essanyu mu kifo ky’ennaku.
Ekyambalo ky’okutendereza
    mu kifo ky’omwoyo w’okukeŋŋeentererwa
balyoke bayitibwe miti gy’abutuukirivu, ebisimbe bya Mukama,
    balyoke baweebwe ekitiibwa.

Read full chapter

(A)Balina omukisa abali mu nnaku,
    kubanga abo balisanyusibwa.

Read full chapter

17 (A)kubanga Omwana gw’Endiga ayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka,
    y’anaabeeranga omusumba waabwe
era y’anaabakulemberanga okubatwala eri ensulo ez’amazzi ag’obulamu.
    Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”

Read full chapter