Isaaya 54:6-8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Kubanga Mukama Katonda yakuyita okomewo,
ng’omukazi eyali alekeddwawo ng’alina ennaku ku mutima;
omukazi eyafumbirwa ng’akyali muto, n’alekebwawo,”
bw’ayogera Katonda wo.
7 (B)“Nakulekako akaseera katono nnyo;
naye ndikukuŋŋaanya n’okusaasira okungi.
8 (C)Obusungu obubuubuuka bwe bwankwata
nakweka amaaso gange okumala ekiseera,
naye ndikukwatirwa ekisa n’okwagala okutaliggwaawo,”
bw’ayogera Mukama Katonda,
Omununuzi wo.
Koseya 4:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okulabula eri Isirayiri
4 (A)Muwulire ekigambo kya Mukama, mmwe abantu ba Isirayiri,
kubanga Mukama abalinako ensonga
mmwe abatuula mu nsi.
“Obwesigwa n’okwagala Katonda,
n’okumumanya bikendedde mu nsi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.