Add parallel Print Page Options

Katonda Alizzaawo Yerusaalemi

52 (A)Zuukuka, zuukuka,
    oyambale amaanyi go, ggwe Sayuuni.
Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu,
    teekako ebyambalo byo ebitemagana.
Kubanga okuva leero mu miryango gyo
    temukyayingira mu atali mukomole n’atali mulongoofu.

Read full chapter

Abalisigalawo ku Isirayiri

20 (A)Awo olulituuka ku lunaku olwo, abaliba bafisseewo ku Isirayiri,
    n’abo abaliba bawonye ku nnyumba ya Yakobo
nga tebakyeyinulira ku oyo[a]
    eyabakuba
naye nga beesigama ku Mukama Katonda,
    omutukuvu wa Isirayiri mu mazima.

Read full chapter

Footnotes

  1. 10:20 Kino kyogera ku bantu ba Bwasuli

11 (A)Abakulembeze be, balya enguzi ne basala omusango nga beekubiira,
    bakabona be, baggya ensimbi ku bantu balyoke bayigirize,
    ne bannabbi be, baagala okuwa obunnabbi nga bamaze kusasulwa.
Kyokka bajuliza Mukama nga boogera nti,
    Mukama tali naffe?
    Tewali kinaatutuukako.”

Read full chapter

Abayudaaya n’amateeka

17 (A)Abamu ku mmwe mweyita Bayudaaya. Mwesiga amateeka ne mwewaana nga bwe mumanyi Katonda.

Read full chapter