Add parallel Print Page Options

13 (A)Nsembeza kumpi obutuukirivu bwange,
    tebuli wala.
    N’obulokozi bwange tebuulwewo.
Ndireeta obulokozi mu Sayuuni,
    ne nzizaawo ekitiibwa kyange mu Isirayiri.”

Read full chapter

10 (A)Laba, Mukama Katonda ajja n’amaanyi mangi
    era afuga n’omukono gwe ogw’amaanyi ag’ekitalo.
Laba empeera ye eri mu mukono gwe,
    buli muntu afune nga bw’akoze.

Read full chapter

Katonda lw’Aliwoolera Eggwanga n’Okununula Abantu be

63 (A)Ani ono ava mu Edomu mu kibuga Bozula
    anekaanekanye mu ngoye emyufu.
Ani ono ali mu ngoye za bakabaka
    akumba mu bukulu bw’ekitiibwa kye?

“Ye nze alangirira obutuukirivu,
    ow’amaanyi okulokola.”

Read full chapter

(A)Natunula naye nga tewali n’omu ayinza kunnyamba,
    newuunya okulaba nga tewaali n’omu ayinza kunkwatirako.
Kale omukono gwange ne gundeetera obuwanguzi,
    era obusungu bwange ne bunnyweza.

Read full chapter