Isaaya 44:9-11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Abo abakola bakatonda abakole n’emikono tebaliimu nsa,
era ebyo bye basanyukira okukola tebirina kye bigasa.
Abajulirwa baabwe tebalaba so tebalina kye bamanyi,
balyoke bakwatibwe ensonyi.
10 (B)Ani akola Katonda omubajje oba asaanuusa ekifaananyi ekyole ekitaliiko kye kiyamba?
11 (C)Laba ye ne banne balikwatibwa ensonyi.
N’ababazzi nabo bantu buntu.
Leka bonna bakuŋŋaane, banjolekere; balikwatibwa ensonyi n’entiisa.
Ensonyi ziribatta bonna era bagwemu entiisa.
Yeremiya 10:3-10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Kubanga empisa ez’amawanga tezigasa;
batema omuti mu kibira,
omubazzi n’aguyooyoota n’ebyuma bye.
4 (B)Bagunyiriza ne ffeeza ne zaabu,
bagukomerera n’enninga n’ennyondo
guleme okunyeenyanyeenya.
5 (C)Bakatonda bafaanana nga ssemufu
mu nnimiro y’ebibala,
era tebasobola kwogera
kubanga basitulwa busitulwa tebasobola kutambula.
Tobatya,
tebayinza kukukola kabi konna,
wadde okukola akalungi n’akamu.”
6 (D)Tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama Katonda.
Oli mukulu,
era erinnya lyo ly’amaanyi nnyo.
7 (E)Ani ataakutye,
Ayi Kabaka w’amawanga?
Kubanga kino kye kikugwanira.
Kubanga mu bagezigezi bonna bannaggwanga
ne mu bwakabaka bwabwe bwonna
tewali ali nga ggwe.
8 (F)Bonna tebalina magezi basirusiru,
abo abayigira ku bakatonda ababajje mu miti.
9 (G)Ffeeza eyaweesebwa ey’empewere eggyibwa e Talusiisi,
ne zaabu eva e Yufazi,
ffundi n’omuweesi wa zaabu bye bakoze
byambazibwa engoye eza kaniki ne z’effulungu.
Gino gyonna mirimu gy’abasajja abakalabakalaba.
10 (H)Naye Mukama ye Katonda ddala, ye Katonda omulamu,
era Kabaka ow’emirembe gyonna.
Bw’asunguwala, ensi ekankana,
amawanga tegasobola kugumira busungu bwe.
Zabbuli 115:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu,
ebikolebwa n’emikono gy’abantu.
Ebikolwa by’Abatume 17:29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
29 (A)“Obanga kino kya mazima nti tuli baana ba Katonda, tetusaana kumulowoozaako ng’ekibajje ekikoleddwa abantu oba ekintu ekyoleddwa mu zaabu oba ffeeza oba ekitemeddwa mu jjinja.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.