Add parallel Print Page Options

Yerusaalemi kya kuzzibwawo

24 (A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Omulokozi wo,
    eyakutondera mu lubuto.

“Nze Mukama,
    eyatonda ebintu byonna,
    eyabamba eggulu nzekka,
    eyayanjuluza ensi obwomu,

Read full chapter

(A)“Mumpulire mmwe, ennyumba ya Yakobo
    n’abantu bonna abasigaddewo mu nnyumba ya Isirayiri.
Mmwe be nnalera okuva lwe mwava mu lubuto,
    be nasitula okuva lwe mwazaalibwa.

Read full chapter

20 Naye bwe yali ng’agalamidde ku kitanda kye ng’akyabirowoozaako, n’afuna ekirooto; n’alaba malayika wa Mukama ng’ayimiridde w’ali, n’amugamba nti, “Yusufu, omwana wa Dawudi, totya kutwala Maliyamu okuba mukazi wo! Kubanga olubuto lw’alina yalufuna ku bwa Mwoyo Mutukuvu.

Read full chapter

14 (A)Noolwekyo Mukama yennyini kyaliva abawa akabonero; laba omuwala atamanyi musajja alizaala omwana wabulenzi era alituumibwa erinnya Emmanweri.

Read full chapter

(A)Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe,
    omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe,
    n’okufuga kunaabanga ku bibegabega bye.
N’erinnya lye aliyitibwa nti,
    Wa kitalo, Omuwi w’amagezi, Katonda Ayinzabyonna,
    Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, Omulangira w’Emirembe.

Read full chapter

(A)Bw’ati bw’ayogera Mukama oyo,
    eyakutonda era eyakubumba mu lubuto,
    ajja kukuyamba.
Totya ggwe Yakobo,[a] omuweereza wange,
    ggwe Yesuruni gwe nalonda.

Read full chapter

Footnotes

  1. 44:2 Wano Yakobo kitegeeza Isirayiri

(A)“Nakumanya bwe nnali sinnakubumba mu lubuto lwa maama wo;
    nga tonnava mu lubuto n’akutukuza.
    Nakulonda okubeera nnabbi eri amawanga.”

Read full chapter

15 (A)Naye Katonda bwe yasiima, eyanjawula okuva mu lubuto lwa mmange, n’ampita olw’ekisa kye,

Read full chapter