Add parallel Print Page Options

11 (A)Aliisa ekisibo kye ng’omusumba,
    akuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe
n’abasitula mu kifuba kye,
    n’akulembera mpola mpola ezibayonsa.

Read full chapter

23 (A)Era bakabaka be balibeera ba kitammwe babalabirire,
    ne bannabagereka babeere bamaama ababayonsa.
Balivuunama mu maaso go nga batunudde wansi;
    balikomba enfuufu y’omu bigere byo.
Olwo lw’olimanya nti nze Mukama,
    abo bonna abannindirira n’abansuubiriramu tebalikwatibwa nsonyi.”

Read full chapter

(A)Mukama bw’alimala okubatuusa mu nsi y’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli; n’ey’Abakiivi, n’Abayebusi, ensi gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa, ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, mukwatanga omukolo guno mu mwezi guno.

Read full chapter