Añadir traducción en paralelo Imprimir Opciones de la página

(A)Era kiribeera ekibikka n’ekisiikirize ekiziyiza ebbugumu ly’emisana, era ekiddukiro omwewogomebwa kibuyaga n’enkuba.

Read full chapter

Abayisirayiri Basuubizibwa Okuddayo

16 (A)“Kyonoova oyogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Newaakubadde nga nabasindika mu mawanga ne mbasaasaanya mu nsi nnyingi, naye mbalabiriridde mu nsi gye baagenda.’

Read full chapter

34 (A)Awo Simyoni n’abasabira omukisa. N’alyoka n’agamba Maliyamu nti, “Omwana ono bangi mu Isirayiri tebagenda kumukkiriza, era alireetera bangi okugwa n’abalala ne bayimusibwa.

Read full chapter

33 (A)nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako[a]
    n’olwazi olulibasuula.
    Oyo amukkiriza taliswazibwa.”

Read full chapter

Notas al pie

  1. 9:33 Ejjinja eryesittalwako ye Kristo.

(A)Era

“Lye jjinja abantu lye beekoonako,
    lwe lwazi kwe beesittala ne bagwa.”

Beesittala kubanga bajeemera ekigambo kya Katonda, nga bwe ky’ateekebwateekebwa.

Read full chapter

17 (A)Entiisa n’obunnya n’omutego bibalindiridde,
    mmwe abantu b’ensi.
18 (B)Buli alidduka eddoboozi ery’entiisa,
    aligwa mu kinnya,
na buli alirinnya n’ava mu kinnya
    alikwatibwa mu mutego.

Enzigi z’eggulu ziguddwawo,
    N’emisingi gy’ensi gikankana.

Read full chapter