Add parallel Print Page Options

(A)Teribaayo mpologoma,
    so teririnnyayo nsolo yonna nkambwe;
    tezirirabikayo,
naye abanunule balitambulira eyo.

Read full chapter

11 (A)amaloboozi ag’essanyu n’okujaguza, n’amaloboozi g’omugole ne bba, n’amaloboozi gaabo abaleeta ekiweebwayo eky’okwebaza eri ennyumba ya Mukama, nga bagamba nti,

“ ‘ “Mumwebaze Mukama Katonda ow’Eggye,
    kubanga Mukama mulungi;
    okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.”

Kubanga ndizzaawo omukisa gw’eggwanga lino nga bwe gwali mu kusooka,’ bw’ayogera Mukama Katonda.

Read full chapter

17 (A)kubanga Omwana gw’Endiga ayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka,
    y’anaabeeranga omusumba waabwe
era y’anaabakulemberanga okubatwala eri ensulo ez’amazzi ag’obulamu.
    Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”

Read full chapter