Add parallel Print Page Options

(A)Naye omuntu ow’ekitiibwa akola entegeka za kitiibwa,
    era ku bikolwa bye eby’ekitiibwa kw’anywerera.
(B)Mmwe abakazi abateefiirayo,
    mugolokoke muwulirize eddoboozi lyange;
mmwe abawala abawulira nga muli wanywevu,
    muwulire bye ŋŋamba.
10 (C)Mu mwaka gumu oba n’okusingawo,
    mmwe abawulira nga muli wanywevu, mulitya,
amakungula g’emizabbibu galifa,
    n’amakungula g’ebibala tegalijja.

Read full chapter