Add parallel Print Page Options

(A)Omusirusiru ayogera bya busirusiru,
    n’omutima gwe gwemalira ku kukola ebitali bya butuukirivu.
Akola eby’obutatya Katonda,
    era ayogera bya bulimba ku Mukama,
n’abayala abaleka tebalina kintu,
    n’abalumwa ennyonta abamma amazzi.
(B)Empisa z’omwonoonyi si za butuukirivu. Akola entegeka ezitali za butuukirivu, alyoke azikirize abaavu n’ebigambo eby’obulimba, ensonga y’abali mu kwetaaga ne bw’eba nga ntuufu.
(C)Naye omuntu ow’ekitiibwa akola entegeka za kitiibwa,
    era ku bikolwa bye eby’ekitiibwa kw’anywerera.

Read full chapter