Añadir traducción en paralelo Imprimir Opciones de la página

33 (A)Weewaawo Tofesi amaze ebbanga ddene nga yeeteekateeka;
    ky’ateekebwateekebwa kabaka.
Ekinnya kyakyo eky’omuliro
    kiwanvu era kigazi,
kijjudde omuliro n’enku;
    omukka gwa Mukama
    gugukoleeza ng’omugga gwa salufa.

Read full chapter

31 (A)Bazimbye ebifo ebigulumivu ebya Tofesi mu kiwonvu kya mutabani wa Kinomu ne bassaddaakiramu batabani baabwe be bazaala n’abawala, kye saalowoozaako wadde okukibalagira.

Read full chapter

32 (A)Laba, ennaku zijja,” bw’atyo bw’ayogera Mukama, bwe kitariyitibwa Kiwonvu kya Tofesi oba ekya Kinnomu ne kiyitibwa Kiwonvu kya ttambiro: kubanga baliziikamu Tofesi okutuusa we wataliba bbanga lya kuziikamu.

Read full chapter

(A)Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Mwegendereze, ennaku zijja, ng’ekifo kino abantu tebakyakiyita Tofesi newaakubadde Kiwonvu kya mutabani wa Kinomu, wabula nga bakiyita ekiwonvu eky’ettambiro.

Read full chapter

(A)Awo n’eryoka eva ku kiwonvu ky’omwana wa Kinomu n’etuuka ku njegoyego za Yebusi ku luuyi olw’obukiikaddyo ye Yerusaalemi, ne yeeyongera ku ntikko y’olusozi oluli w’okkira mu kiwonvu kya Kinomu ku luuyi olw’ebugwanjuba, ku nkomerero y’ekiwonvu kya Lefayimu mu bukiikakkono;

Read full chapter

21 (A)“ ‘Mu baana bo towangayo n’omu ng’ekiweebwayo ekyokeddwa mu muliro eri Moleki, kubanga erinnya lya Katonda wo tosaanira kuliweebuulanga. Nze Mukama.

Read full chapter

10 (A)Tewabeerangawo omuntu n’omu alirabika ng’ayisa mutabani we, oba muwala we mu muliro, ng’ekiweebwayo, oba ng’akola ng’omulaguzi, oba omulogo, oba omusawo w’ekinnansi, oba avvuunula eby’omu biseera ebijja,

Read full chapter