Add parallel Print Page Options

29 (A)Oluyimba luliba ng’olwo lwoyimba mu kiro ng’ojaguza ku mbaga entukuvu;
omutima gwo gulijaguza ng’abantu bwe bajaguza nga bafuuwa endere
ku lusozi lwa Mukama, ku lwazi lwa Isirayiri.
30 Mukama aliyamba abantu okuwulira eddoboozi lye ery’ekitiibwa,
    alibaleetera okulaba omukono gwe nga gukka mu busungu obungi ennyo ne mu muliro ogusaanyaawo, ne mu bire ebibwatuka, ne mu muzira.
31 (B)Weewaawo eddoboozi lya Mukama lirisesebbula Bwasuli,
    alibakuba n’omuggo gwe ogw’obwakabaka.

Read full chapter