Add parallel Print Page Options

18 (A)Olunaku lujja Mukama lwaliggya ku bakazi b’omu Yerusaalemi ebintu byonna ebibaleetera amalala, ebikomo by’oku magulu, ebitambaala ebibikka ku mitwe, n’obukuufiira, 19 ebyokumatu, ebyambalwa mu bulago, n’obutimba bw’omu maaso, 20 (B)ebyokumitwe, ebyokumikono, ebyomukiwato, 21 empeta ez’oku ngalo n’ez’omu nnyindo, 22 engoye ennungi, n’eminagiro, n’amaganduula, n’obusawo, 23 n’endabirwamu, n’engoye ez’obutimba, n’eza linena, n’ebitambaala eby’oku mitwe ebinaanikiddwa n’amayinja ag’omuwendo, n’engoye ezibabikka.

Read full chapter

(A)Era kye njagala abakazi bambalenga ebyambalo ebisaanira, beegenderezenga, nga tebeemalira mu misono gya nviiri, ne mu kwewoomya nga bambala ebya zaabu n’amayinja ag’omuwendo, wadde okwambala engoye ez’omuwendo ennyo.

Read full chapter