Add parallel Print Page Options

11 (A)Okwolesebwa kuno kwonna tekulina makulu gy’oli okuggyako okuba ebigambo ebissibwako akabonero mu muzingo. Omuzingo bw’oguwa omuntu, asobola okusoma n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Sisobola, kuliko akabonero.” 12 Oba omuzingo bw’oguwa omuntu atasobola kusoma, n’omugamba nti, “Nkwegayiridde kino kisome,” ajja kukuddamu nti, “Simanyi kusoma.”

Read full chapter