Add parallel Print Page Options

Obunnabbi Obukwata ku Misiri ne Kuusi

20 (A)Mu mwaka Talutani omuduumizi w’oku ntikko mwe yajjira mu Asudodi ng’atumiddwa Salugoni kabaka we Bwasuli n’alwana ne Asudodi n’akiwamba;

Read full chapter

20 (A)Ebirala byonna ebyabaawo mu mirembe gya Keezeekiya n’ebyobuzira bye byonna, ne bwe yakola ekidiba n’omudumu omunene ebyaleetanga amazzi mu kibuga, tebyawandiikibwa mu kitabo ky’ebyafaayo eky’ebyomumirembe bya bassekabaka ba Yuda?

Read full chapter

(A)Ekibiina kinene eky’abantu ne kikuŋŋaana, ne baziba enzizi zonna n’akagga akayita mu nsi, nga bagamba nti, “Lwaki bakabaka b’e Bwasuli bajja ne basanga amazzi amangi bwe gatyo?”

Read full chapter

30 (A)Keezeekiya, ye yaziba oluzzi olwa waggulu olwa Gikoni, amazzi n’agaserengesa ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’ekibuga kya Dawudi. N’alaba omukisa mu buli kye yakolanga.

Read full chapter

(A)Mukama Katonda n’alyoka agamba Isaaya nti, “Fuluma kaakano osisinkane Akazi, ggwe ne mutabani wo Seyalusayubu, olusalosalo olw’ekidiba ekyengulu we lukoma, mu luguudo olw’Ennimiro y’Omwozi w’Engoye,

Read full chapter