Add parallel Print Page Options

(A)Wayabulira abantu bo
    ab’ennyumba ya Yakobo,
kubanga eggwanga lijjudde obusamize obuva mu buvanjuba,
    n’obulaguzi obuli nga obw’omu Bafirisuuti,
    era basizza kimu ne bannamawanga.

Read full chapter

14 (A)Bombi awamu balirumba ne bamalawo Abafirisuuti mu busozi bw’ebugwanjuba;
    era bombiriri balinyaga abantu b’omu buvanjuba.
Baligolola omukono gwabwe ku Edomu ne Mowaabu;
    n’abaana ba Amoni balibagondera.

Read full chapter

29 (A)Tosanyuka ggwe Bufirisuuti yonna,
    kubanga omuggo ogwakukuba gumenyese,
ne ku kikolo ky’omusota kulivaako enswera,
    n’ezzadde lyalyo liriba musota ogw’obusagwa oguwalabuka.

Read full chapter

20 (A)n’abagwira bonna abaaliyo;

bakabaka ba Uzi bonna,

ne bakabaka b’Abafirisuuti bonna, abo ab’e Asukulooni, n’e Gaza, n’e Ekuloni, n’abantu abaalekebwa e Asudodi,

Read full chapter

(A)Ndizikiriza atuula mu Asudodi,
    n’oyo akwata omuggo gw’obwakabaka ndimumalawo okuva mu Asukulooni.
Ndibonereza Ekuloni
    okutuusa lwe ndimalirawo ddala Abafirisuuti,”
    bw’ayogera Mukama.

Read full chapter

(A)Langirira eri ebigo by’e Asudodi
    n’eri ebigo by’e Misiri nti,
“Mujje mukuŋŋaanire ku nsozi z’e Samaliya
    mulabe akajagalalo akanene akali eyo
    n’abantu be nga bwe bajoogebwa.”

Read full chapter