Add parallel Print Page Options

Obunnabbi bw’Okusuulibwa kwa Bwasuli

24 (A)Mukama Katonda ow’Eggye alayidde n’ayogera nti,

“Ddala nga bwe nalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo
era nga bwe nateesa,
    bwe kirinywera bwe kityo.
25 (B)Ndimenyera Omwasuli mu nsi yange,
    era ndimulinnyirira ku nsozi zange.
Ekikoligo kye kiribavaako,
    n’omugugu gwe guliggyibwa ku kibegabega kye.”

26 (C)Eno y’entegeka eyategekerwa ensi yonna:
    era guno gwe mukono ogwagololwa ku mawanga gonna.
27 (D)Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye ye yateesa, kale ani ayinza okukijjulula?
    Omukono gwe gugoloddwa, kale ani ayinza okuguzzaayo?

Read full chapter

(A)Nze nteekawo ekitangaala
    ne ntonda ekizikiza.
    Nze ndeeta okukulaakulana n’okubonaabona.
Nze Mukama akola ebyo byonna.

Read full chapter