Add parallel Print Page Options

10 (A)Kubanga emmunyeenye ez’omu ggulu n’ebibiina byazo
    tebiryaka;
enjuba nayo teryaka nga bw’ekola bulijjo,
    n’omwezi nagwo tegulyaka.

Read full chapter

(A)Emmunyeenye zonna ez’omu ggulu zirisaanuuka,
    n’eggulu liryezingako ng’omuzingo;
n’eggye ery’omu ggulu lirigwa,
    ng’ebikoola ebiwotose ebiva ku muzabbibu,
    ng’ebirimba ebyayongobera ebiva ku mutiini.

Read full chapter

(A)Bwe ndikusaanyaawo,
    ndibikka eggulu
ne nfuula emmunyeenye zaakwo
    okubaako ekizikiza;

Read full chapter

12 (A)Awo ne ndaba ng’abembulula akabonero k’envumbo ak’omukaaga; ne wabaawo musisi ow’amaanyi ennyo, era enjuba n’eddugala n’efuuka nzirugavu ng’ekibukutu ekyakolebwa mu bwoya, n’omwezi gwonna ne gumyuka ng’omusaayi.

Read full chapter

13 (A)Awo emmunyeenye ez’omu ggulu ne zigwa ku nsi ng’omutiini bwe gukunkumula emitiini egitanayengera olwa kibuyaga ow’amaanyi,

Read full chapter

12 (A)Malayika owookuna n’afuuwa ekkondeere lye, ekitundu ekimu ekyokusatu eky’enjuba n’ekimu ekyokusatu eky’omwezi, n’ekimu ekyokusatu eky’emmunyeenye, ne bikubwa; era ekyavaamu, obudde obw’emisana ne buzikirako ekitundu ekimu ekyokusatu, n’ekiro ne kyeyongera okukwata ekitundu ekimu ekyokusatu, n’omusana ne gulema okwaka ekitundu ekimu ekyokusatu, n’ekizikiza ne kyeyongera bwe kityo.

Read full chapter