Add parallel Print Page Options

11 (A)Era ku lunaku olwo Mukama aligolola omukono gwe omulundi ogwokubiri[a] okununula abasigalawo ku bantu be, okubaggya mu Bwasuli ne mu Misiri ne mu Pasuloosi ne mu Kuusi ne mu Eramu ne mu Sinaali ne mu Kamasi ne mu bizinga eby’omu nnyanja.

Read full chapter

Footnotes

  1. 11:11 Abayisirayiri bwe baali bava e Misiri ogwo gwe mulundi ogwasooka.

(A)N’amawanga mangi galibayamba
    okudda mu nsi yaabwe,
n’ennyumba ya Isirayiri ebeere n’abantu
    abamawanga amangi mu nsi ya Mukama Katonda, nga baweereza baabwe abasajja n’abakazi.
Baliwamba abaali babawambye,
    bafuge abo abaabakijjanyanga.

Read full chapter

(A)Ndigamba obukiikakkono nti, ‘Waayo b’olina,’
    n’obukiikaddyo nti, ‘Tobagaanira.’
Leeta batabani bange okuva ewala
    ne bawala bange okuva ku nkomerero y’ensi.

Read full chapter

(A)Laba oliyita amawanga g’otomanyi,
    era amawanga g’otomanyi galyanguwa okujja gy’oli.
Kiribaawo olw’obuyinza bwa Mukama Katonda wo
    era Omutukuvu wa Isirayiri
    kubanga akugulumizza.”

Read full chapter