Add parallel Print Page Options

10 (A)Nga zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya,
    n’abo abawa ebiragiro ebinyigiriza,
(B)okulemesa abaavu ne batafuna nsala ebagwanidde;
    era n’okunyaga ku bantu bange abaavu ebyabwe,
ne bafuula bannamwandu omunyago gwabwe,
    n’abatalina ba kitaabwe omuyiggo gwabwe!
(C)Mulikola mutya ku lunaku Mukama lwalisalirako omusango
    ne mu kuzikirira okuliva ewala?
Muliddukira w’ani alibayamba?
    Obugagga bwammwe mulibuleka wa?

Read full chapter