Isaaya 1:4-6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Woowe! Eggwanga erijjudde ebibi,
    abantu abajjudde obutali butuukirivu,
ezzadde eryabakola ebibi,
    abaana aboonoonyi!
Balese Mukama
    banyoomye Omutukuvu wa Isirayiri,
    basenguse bamuvuddeko bamukubye amabega.
5 (B)Lwaki mweyongera okujeema?
    Mwagala mwongere okubonerezebwa?
Omutwe gwonna mulwadde,
    n’omutima gwonna gunafuye.
6 (C)Okuva mu mala g’ekigere okutuuka ku mutwe
    temuli bulamu
wabula ebiwundu, n’okuzimba,
    n’amabwa agatiiriika amasira
agatanyigibwanga, okusibibwa,
    wadde okuteekebwako eddagala.
Danyeri 9:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 Ayi Mukama, ffe ne bakabaka baffe, n’abalangira baffe, ne bajjajjaffe tuswadde kubanga twonoonye.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.