Isaaya 47:8-11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)“Kale nno kaakano wuliriza kino,
ggwe awoomerwa amasanyu
ggwe ateredde mu mirembe gyo,
ng’oyogera mu mutima gwo nti,
‘Nze ndiwo era tewali mulala wabula nze.
Siribeera nnamwandu
wadde okufiirwa abaana.’
9 (B)Ebintu bino byombi birikutuukako mangu nnyo mu lunaku lumu,
eky’okufiirwa abaana
n’okufuuka nnamwandu.
Birikutuukako mu kigera kyabyo ekituufu,
newaakubadde obulogo bwo nga bungi okuyitirira,
n’eby’obufumu byo nga bigenze wala.
10 (C)Weesiga obutali butuukirivu bwo,
n’olowooza nti, ‘Siriiko annondoola.’
Amagezi go era n’okumanya kwo byakuwabya,
bwe wayogera nti, ‘Nze ndiwo, era teri mulala wabula nze.’
11 (D)Kyokka ensasagge erikujjira
era tolimanya ngeri yakugyeggyako;
n’okuzikirira kw’otoliyinza kweggyako na muwendo gwa nsimbi;
akabi k’otolirabirawo kalikutuukako amangu ddala.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.