Genesis 46
The Message
46 So Israel set out on the journey with everything he owned. He arrived at Beersheba and worshiped, offering sacrifices to the God of his father Isaac.
2 God spoke to Israel in a vision that night: “Jacob! Jacob!”
“Yes?” he said. “I’m listening.”
3-4 God said, “I am the God of your father. Don’t be afraid of going down to Egypt. I’m going to make you a great nation there. I’ll go with you down to Egypt; I’ll also bring you back here. And when you die, Joseph will be with you; with his own hand he’ll close your eyes.”
5-7 Then Jacob left Beersheba. Israel’s sons loaded their father and their little ones and their wives on the wagons Pharaoh had sent to carry him. They arrived in Egypt with the livestock and the wealth they had accumulated in Canaan. Jacob brought everyone in his family with him—sons and grandsons, daughters and granddaughters. Everyone.
8 These are the names of the Israelites, Jacob and his descendants, who went to Egypt:
Reuben, Jacob’s firstborn.
9 Reuben’s sons: Hanoch, Pallu, Hezron, and Carmi.
10 Simeon’s sons: Jemuel, Jamin, Ohad, Jakin, Zohar, and Shaul the son of a Canaanite woman.
11 Levi’s sons: Gershon, Kohath, and Merari.
12 Judah’s sons: Er, Onan, Shelah, Perez, and Zerah (Er and Onan had already died in the land of Canaan). The sons of Perez were Hezron and Hamul.
13 Issachar’s sons: Tola, Puah, Jashub, and Shimron.
14 Zebulun’s sons: Sered, Elon, and Jahleel.
15 These are the sons that Leah bore to Jacob in Paddan Aram. There was also his daughter Dinah. Altogether, sons and daughters, they numbered thirty-three.
16 Gad’s sons: Zephon, Haggi, Shuni, Ezbon, Eri, Arodi, and Areli.
17 Asher’s sons: Imnah, Ishvah, Ishvi, and Beriah. Also their sister Serah, and Beriah’s sons, Heber and Malkiel.
18 These are the children that Zilpah, the maid that Laban gave to his daughter Leah, bore to Jacob—sixteen of them.
19-21 The sons of Jacob’s wife Rachel were Joseph and Benjamin. Joseph was the father of two sons, Manasseh and Ephraim, from his marriage to Asenath daughter of Potiphera, priest of On. They were born to him in Egypt. Benjamin’s sons were Bela, Beker, Ashbel, Gera, Naaman, Ehi, Rosh, Muppim, Huppim, and Ard.
22 These are the children born to Jacob through Rachel—fourteen.
23 Dan’s son: Hushim.
24 Naphtali’s sons: Jahziel, Guni, Jezer, and Shillem.
25 These are the children born to Jacob through Bilhah, the maid Laban had given to his daughter Rachel—seven.
26-27 Summing up, all those who went down to Egypt with Jacob—his own children, not counting his sons’ wives—numbered sixty-six. Counting in the two sons born to Joseph in Egypt, the members of Jacob’s family who ended up in Egypt numbered seventy.
* * *
28-29 Jacob sent Judah on ahead to get directions to Goshen from Joseph. When they got to Goshen, Joseph gave orders for his chariot and went to Goshen to meet his father Israel. The moment Joseph saw him, he threw himself on his neck and wept. He wept a long time.
30 Israel said to Joseph, “I’m ready to die. I’ve looked into your face—you are indeed alive.”
31-34 Joseph then spoke to his brothers and his father’s family. “I’ll go and tell Pharaoh, ‘My brothers and my father’s family, all of whom lived in Canaan, have come to me. The men are shepherds; they’ve always made their living by raising livestock. And they’ve brought their flocks and herds with them, along with everything else they own.’ When Pharaoh calls you in and asks what kind of work you do, tell him, ‘Your servants have always kept livestock for as long as we can remember—we and our parents also.’ That way he’ll let you stay apart in the area of Goshen—for Egyptians look down on anyone who is a shepherd.”
Olubereberye 46
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Yakobo Agenda e Misiri
46 (A)Awo Isirayiri n’addira byonna bye yalina, n’atandika olugendo; bwe yatuuka e Beriseba n’awaayo ssaddaaka eri Katonda wa kitaawe Isaaka.
2 (B)Katonda n’ayogera ne Isirayiri mu kwolesebwa ekiro, n’amuyita nti, “Yakobo, Yakobo?”
N’amuddamu nti, “Nze nzuuno.”
3 (C)Katonda n’amugamba nti, “Nze Katonda, Katonda wa kitaawo; totya kuserengeta Misiri, kubanga ndi kufuulirayo eyo eggwanga eddene. 4 (D)Nzija kuserengeta naawe e Misiri, era ndi kuggyayo; era olifiira mu mikono gya Yusufu.”
5 (E)Awo Yakobo n’ava e Beriseba, batabani be ne bamutwalira wamu n’abaana baabwe abato, ne bakazi baabwe ne babassa mu magaali Falaawo ge yaweereza okumutwala. 6 (F)Era ne batwala ebisibo n’ebintu byabwe bye baafunira mu nsi ya Kanani ne batuuka e Misiri, Yakobo wamu n’ezzadde lye. 7 (G)Batabani be ne bazzukulu be, bawala be n’abaana ba bawala be; ezzadde lye lyonna n’alireeta mu Misiri wamu naye.
Abaana n’Abazzukulu ba Yakobo
8 (H)Gano ge mannya g’abazzukulu ba Isirayiri abaagenda e Misiri ne Yakobo:
Lewubeeni mutabani wa Yakobo omubereberye,
9 (I)ne batabani ba Lewubeeni:
Kanoki, ne Palu, ne Kezulooni ne Kalumi.
10 (J)Ne batabani ba Simyoni:
Yamweri, ne Yamini, ne Okadi, ne Yakini, ne Zokali ne Sawuli omwana w’omukazi Omukanani.
11 (K)Ne batabani ba Leevi:
Gerusoni, ne Kokasi ne Merali.
12 (L)N’aba Yuda:
Eri, ne Onani, ne Seera, ne Pereezi ne Zeera; naye bo Eri ne Onani baafiira mu nsi ya Kanani.
Batabani ba Pereezi baali:
Kezulooni ne Kamuli.
13 (M)Bo aba Isakaali baali:
Tola, ne Puva, ne Yobu ne Simuloni.
14 (N)Batabani ba Zebbulooni baali
Seredi, ne Eroni ne Yaleeri.
15 Abo be batabani ba Leeya be yazaalira Yakobo nga bali mu Padanalaamu, omuwala ye yali Dina. Abaana bonna aboobulenzi n’aboobuwala baali amakumi asatu mu basatu.
16 (O)Batabani ba Gaadi baali
Zifiyooni, ne Kagi, ne Suni, ne Ezuboni, ne Eri, ne Alodi ne Aleri.
17 (P)Bo batabani ba Aseri be bano:
Imuna, ne Isuva, ne Isuvi, ne Beriya
awamu ne Seera mwannyinaabwe.
Bo Batabani ba Beriya baali
Keba ne Malukiyeeri.
18 (Q)Bano be batabani ba Zirupa, Labbaani gwe yawa Leeya muwala we, be yazaalira Yakobo; abantu kkumi na mukaaga.
19 (R)Batabani ba Laakeeri, mukazi wa Yakobo be bano
Yusufu ne Benyamini.
20 (S)Aba Yusufu ng’ali e Misiri baali Manase ne Efulayimu, Asenaasi muwala wa Potiferi kabona wa Oni be yamuzaalira.
21 (T)Ne batabani ba Benyamini be ba:
Bera, ne Bekeri, ne Asuberi, ne Gera, ne Naamani, ne Eki, ne Losi, ne Mupimu, ne Kupimu ne Aludi.
22 Abantu abasibuka mu Laakeeri mukazi wa Yakobo baali kkumi na bana.
23 Mutabani wa Ddaani ye
Kusimu.
24 Bo aba Nafutaali be ba:
Yazeeri, ne Guni, ne Yezeri, ne Siremu.
25 (U)Bano be baava mu Biira mukazi wa Yakobo, Labbaani gwe yawa Laakeeri muwala we; bonna be bantu musanvu.
26 (V)Abantu bonna aba Yakobo abajja mu Misiri, ab’enda ye nga totaddeeko baka baana be, baali abantu nkaaga mu mukaaga. 27 (W)Batabani ba Yusufu abaamuzaalirwa ng’ali mu Misiri baali babiri. Abantu bonna ab’ennyumba ya Yakobo abajja e Misiri baali nsanvu[a].
Okutuula e Misiri
28 (X)Yakobo n’atuma Yuda eri Yusufu ajje amusisinkane mu Goseni, ne batuuka e Goseni. 29 (Y)Awo Yusufu n’ateekateeka eggaali lye n’agenda okusisinkana Isirayiri kitaawe e Goseni, n’amweraga, n’amugwa mu kifuba n’akaabira mu kifuba kye okumala akabanga.
30 Isirayiri n’agamba Yusufu nti, “Kale kaakano ka nfe, kubanga ndabye amaaso go ne ntegeera nti okyali mulamu.”
31 (Z)Yusufu n’agamba baganda be n’ab’ennyumba ya kitaawe nti, “Nzija kugenda eri Falaawo mugambe nti, ‘Baganda bange n’ennyumba ya kitange abaali mu nsi ya Kanani bazze gye ndi. 32 Kyokka balunzi; balunda ente era baleese amagana gaabwe n’ebisibo byabwe ne byonna bye balina.’ 33 (AA)Kale Falaawo bw’abayita n’ababuuza nti, ‘Mukola mulimu ki?’ 34 (AB)Mumuddemu nti, ‘Abaweereza bo kasookedde tuzaalibwa tuli balunzi, ffe ne bajjajjaffe.’ Mulyoke mubeere mu nsi ya Goseni, kubanga abalunzi baamuzizo eri Abamisiri.”
Footnotes
- 46:27 Awamu kigamba nsavu mu bataano
Copyright © 1993, 2002, 2018 by Eugene H. Peterson
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.