Add parallel Print Page Options

20 Bw’atyo omuntu n’atuuma buli nsolo ey’awaka, n’ebinyonyi eby’omu bbanga n’ensolo ez’omu nsiko amannya.

Adamu yali tannaba kufunirwa mubeezi. 21 Mukama Katonda n’aleetera omusajja otulo tungi nnyo ne yeebaka; bwe yali nga yeebase n’amuggyamu olubirizi lumu, n’azzaawo ennyama. 22 (A)Mukama Katonda n’atonda omukazi okuva mu lubiriizi lwe yaggya mu musajja n’amumuleetera.

23 (B)Omusajja n’agamba nti,

“Lino lye ggumba ery’omu magumba gange,
    ye nnyama ey’omu nnyama yange,
anaayitibwanga mukazi;
    kubanga aggyibbwa mu musajja.”

24 (C)Noolwekyo omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omubiri gumu.

Read full chapter