Add parallel Print Page Options

Ibulayimu n’Abagenyi Abasatu

18 (A)Awo Mukama n’alabikira Ibulayimu mu mivule gya Mamule, mu ttuntu ng’atudde mu mulyango gwa weema ye. (B)Bwe yasitula amaaso ge n’alaba, era laba, abasajja basatu nga bayimiridde mu maaso ge. Bwe yabalaba, n’adduka okuva mu mulyango gwa weema ye, okubasisinkana n’agwa wansi, n’agamba nti, “Mukama wange obanga ndabye ekisa mu maaso go, toyita ku muddu wo. (C)Leka tuleete otuzzi munaabe ku bigere, muwummuleko wano wansi w’omuti, (D)nga bwe ndeeta omugaati mulyeko muddemu amaanyi, mulyoke mugende, anti muzze eri muddu wammwe.”

Ne bamugamba nti, “Kola nga bw’ogambye.”

Ibulayimu n’ayanguwa okugenda eri Saala, n’amugamba nti, “Teekateeka mangu kilo kkumi na mukaaga ez’obutta okande ofumbire mangu abagenyi emmere.”

Ibulayimu n’agenda bunnambiro mu kisibo n’aggyamu ennyana, ento era ennungi n’agiwa omu ku bavubuka[a] eyayanguwa okugifumba. (E)Awo n’addira omuzigo n’amata n’ennyana eyafumbibwa n’abiteeka mu maaso gaabwe; n’ayimirira we baali, wansi w’omuti nga balya.

Read full chapter

Footnotes

  1. 18:7 Akyayinza okuba nga yali Isimayiri