Olubereberye 11:27-14:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Obuzaale bwa Ibulaamu
27 (A)Bino bye bifa ku b’olulyo lwa Teera:
Teera ye kitaawe wa Ibulaamu, ne Nakoli ne Kalani; Kalani ye yali kitaawe wa Lutti. 28 (B)Kalani yafa nga kitaawe Teera tannafa. Yafiira mu Uli ey’Abakaludaaya mwe yazaalirwa. 29 (C)Ibulaamu ne Nakoli ne bawasa; erinnya lya mukazi wa Ibulaamu lyali Salaayi, ate mukazi wa Nakoli nga ye Mirika, muwala wa Kalani, kitaawe wa Mirika ne Isika. 30 (D)Salaayi yali mugumba, teyalina mwana.
31 (E)Teera n’atwala Ibulaamu mutabani we Lutti muzzukulu we mutabani wa Kalani, ne Salaayi muka mutabani we Ibulaamu, ne bagenda bonna okuva mu Uli eky’Abakaludaaya okugenda mu nsi ya Kalani; bwe baatuuka mu Kalani,[a] ne babeera omwo.
32 Emyaka gya Teera gyali ebikumi bibiri mu etaano; Teera n’afiira mu Kalani.
Okuyitibwa kwa Ibulaamu
12 (F)Awo Mukama n’agamba Ibulaamu nti, “Vva mu nsi yannyo ne mu bantu bo ne mu nnyumba ya kitaawo ogende mu nsi gye ndikulaga.
2 (G)“Nange ndikufuula eggwanga eddene,
era ndikuwa omukisa,
n’erinnya lyo ne ndifuula kkulu,
olyoke obeere mukisa.
3 (H)Ndiwa omukisa abo abakusabira omukisa,
era buli alikukolimira nange namukolimiranga;
era mu ggwe amawanga gonna ag’omu nsi
mwe galiweerwa omukisa.”
4 (I)Bw’atyo Ibulaamu n’agenda nga Mukama bwe yamugamba, ne Lutti n’agenda wamu naye. Ibulaamu we yaviira mu Kalani yali aweza emyaka nsanvu mu etaano. 5 (J)Ibulaamu n’atwala Salaayi mukazi we, ne Lutti mutabani wa muganda we ne byonna bye baalina bye baali bafunye, n’abantu baabwe be baafunira mu Kalani, ne basitula okugenda mu Kanani. Ne batuuka mu nsi ya Kanani.
6 (K)Ibulaamu n’ayita mu nsi n’atuuka mu kifo ekiyitibwa Sekemu awali emivule gya Mole. Mu biro ebyo Abakanani be baali mu nsi omwo. 7 (L)Awo Mukama n’alabikira Ibulaamu n’agamba nti, “Ensi eno ndigiwa abo abaliva mu ggwe.” Awo Ibulaamu n’azimbira eyo Mukama ekyoto eyamulabikira.
8 (M)Bw’atyo n’alaga ku lusozi ku luuyi olw’ebuvanjuba obwa Beseri, n’asimba eweema ye nga Beseri ali ku luuyi olw’ebugwanjuba, ne Ayi ngali ku luuyi olw’ebuvanjuba, n’azimbira eyo Mukama ekyoto, n’akoowoola erinnya lya Mukama. 9 (N)Ibulaamu ne yeeyongera okutambula ng’ayolekera Negevu[b].
Ibulaamu Agenda e Misiri
10 Ne wagwa enjala mu nsi. Bw’atyo Ibulaamu n’aserengeta e Misiri[c] asengukireko eyo, kubanga enjala nnyingi eyali mu nsi. 11 Bwe yali anaatera okuyingira mu Misiri, n’agamba Salaayi mukazi we nti, “Mmanyi ng’oli mukazi mulungi era mubalagavu, 12 era Abamisiri bwe balikulabako baligamba nti, ‘Ono ye mukazi we,’ kale balinzita, naye ggwe ne bakuleka. 13 (O)Ogambanga nti, Oli mwannyinaze ndyoke mbeere bulungi ku lulwo, n’obulamu bwange buleme kubaako kabi, buwone ku lulwo.”
14 Ibulaamu bwe yayingira mu Misiri, Abamisiri ne balaba Salaayi nga mukazi mulungi nnyo. 15 N’abakungu ba Falaawo bwe baamulaba ne bamutendera Falaawo ne bamutwala mu lubiri lwa Falaawo. 16 Ku lwa Salaayi, Falaawo n’ayisa bulungi Ibulaamu. Ibulaamu n’aweebwa endiga, n’ente, n’endogoyi, n’abaweereza abasajja, n’abaweereza abakazi, n’endogoyi enkazi, n’eŋŋamira.
17 (P)Naye Mukama n’aleetera Falaawo n’ennyumba ye endwadde enkambwe olwa Salaayi mukazi wa Ibulaamu. 18 (Q)Awo Falaawo n’ayita Ibulaamu n’amugamba nti, “Kiki kino ky’onkoze? Lwaki tewantegeeza nti mukazi wo? 19 Lwaki wagamba nti mwannyoko, ne mmutwala okuba mukazi wange? Kale kaakano mukazi wo wuuno mmutwale mugende.” 20 Falaawo n’alagira basajja be ebikwata ku Ibulaamu, ne bamusindiikiriza n’ava mu nsi ne mukazi we ne byonna bye yalina.
13 (R)Bw’atyo Ibulaamu n’ayambuka okuva mu Misiri ye ne mukazi we, ne byonna bye yalina, ne Lutti ne bayingira mu Negevu.
Ibulaamu ne Lutti Baawukana
2 Mu kiseera ekyo Ibulaamu yalina ente nnyingi, ne ffeeza ne zaabu nnyingi nnyo. 3 (S)N’atambula okuva e Negevu n’atuuka e Beseri, mu kifo eweema ye we yali olubereberye, wakati wa Beseri ne Ayi, 4 (T)mu kifo we yasooka okuzimbira Mukama ekyoto, Ibulaamu n’akoowoolera eyo erinnya lya Mukama.
5 Ne Lutti eyagenda ne Ibulaamu naye yalina ebisibo by’endiga n’amagana g’ente n’ab’enju ye nga bangi, 6 (U)ekitundu mwe baali nga tekibamala bombi. Obugagga bwabwe bwali bungi nnyo, 7 (V)ate nga n’abasumba baabwe bayombagana. Mu kiseera ekyo Abakanani n’Abaperezi nabo baabanga mu nsi omwo.
8 (W)Awo Ibulaamu n’agamba Lutti nti, “Tewasaana kubaawo kuyombagana wakati wange naawe, wadde wakati w’abalunzi bo n’abange, kubanga tuli baaluganda. 9 Ensi yonna teri mu maaso go? Leka twawukane. Bwonoolonda oluuyi olwa kkono, nze n’alaga ku luuyi olwa ddyo, bw’onoolaga ku luuyi olwa ddyo nze n’alaga ku luuyi olwa kkono.”
10 (X)Lutti n’ayimusa amaaso ge, n’alaba ekiwonvu kya Yoludaani nga kirungi, nga kirimu amazzi buli wantu nga kifaanana ng’ennimiro ya Mukama; nga kiri ng’ensi ya Misiri ku luuyi olwa Zowaali. Kino kyaliwo nga Mukama tannazikkiriza Sodomu ne Ggomola. 11 Bw’atyo Lutti ne yeeronderawo olusenyi lwa Yoludaani n’agenda ku luuyi olw’ebuvanjuba; bwe batyo ne baawukana. 12 (Y)Ibulaamu n’abeera mu nsi ya Kanani, ye Lutti n’abeera mu bibuga eby’omu lusenyi n’atwala eweema ye n’agisimba okumpi ne Sodomu. 13 (Z)Abasajja aba Sodomu baali babi era nga boonoonyi nnyo eri Mukama.
14 (AA)Mukama n’agamba Ibulaamu ng’amaze okwawukana ne Lutti nti, “Yimusa amaaso go ng’osinziira mu kifo mw’oli, otunule ku bukiikakkono, ne ku bukiikaddyo, n’ebuvanjuba n’ebugwanjuba; 15 (AB)kubanga ensi gy’olaba ndigikuwa ggwe n’ezzadde lyo emirembe gyonna. 16 Ndyaza ezzadde lyo ng’enfuufu ey’oku nsi; omuntu bw’alisobola okubala enfuufu ey’oku nsi, n’ezzadde lyo aliribala. 17 (AC)Situka, tambula obuwanvu n’obukiika obw’ensi kubanga ngikuwadde.”
18 (AD)Awo Ibulaamu n’asimbula eweema ye n’agenda n’abeera okumpi n’emivule gya Mamule, ekiri e Kebbulooni, n’azimbira eyo Mukama ekyoto.
Olutalo ne Bakabaka
14 (AE)Mu biro bya Amulafeeri kabaka wa Sinaali,[d] ne Aliyooki kabaka wa Erasali, ne Kedolawomeeri kabaka wa Eramu ne Tidali kabaka wa Goyiyimu, 2 (AF)bakabaka bano ne balumba ne balwana ne Bbeera kabaka wa Sodomu, ne Bbiruusa kabaka wa Ggomola, ne Sinaabu kabaka wa Aduma, ne Semebeeri kabaka wa Zeboyiyimu ne kabaka wa Bera, ye Zowaali. 3 (AG)Bano bonna abooluvannyuma ne beegatta wamu mu kiwonvu kya Sidimu (y’Ennyanja ey’Omunnyo). 4 Baamala emyaka kkumi n’ebiri nga baweereza Kedolawomeeri kabaka we Eramu, naye mu mwaka ogw’ekkumi n’esatu ne bamujeemera.
5 (AH)Mu mwaka ogw’ekkumi n’ena Kedolawomeeri ne bakabaka abaali naye ne balumba Abaleefa[e] mu Asuterosikalumayimu ne babawangula, n’Abazuuzi mu Kaamu, n’Abemi mu Savekiriyasayimu, 6 (AI)n’Abakooli mu nsi ey’ensozi eya Seyiri n’okutuukira ddala Erupalaani okumpi n’eddungu. 7 (AJ)Ate ne bakyuka ne bajja e Nuumisupaati, ye Kadesi ne bawangula ensi yonna ey’Abamaleki n’Abamoli abaabeeranga mu Kazazonutamali.
8 (AK)Awo kabaka wa Sodomu ne kabaka wa Ggomola, ne kabaka wa Aduma, ne kabaka wa Zeboyiyimu ne kabaka wa Bera, ye Zowaali ne beegatta mu lutalo mu kiwonvu ky’e Sidimu 9 okulwanyisa Kedolawomeeri kabaka wa Eramu, ne Tidali kabaka wa Goyiyimu ne Amulafeeri kabaka wa Sinaali awamu ne Aliyooki kabaka wa Erasali, bakabaka bana nga balwanyisa bakabaka bataano. 10 (AL)Ekiwonvu ky’e Sidimu kyali kijjudde ebinnya ebirimu kolaasi; bakabaka b’e Sodomu ne Ggomola bwe baddukanga ng’abamu babigwamu, n’abalala ne baddukira ku nsozi. 11 Awo bakabaka abana ne batwala ebintu byonna ebyali mu Sodomu ne Ggomola, n’emmere yaabwe yonna gye baalina ne bagenda. 12 Era ne batwala ne Lutti, mutabani wa muganda wa Ibulaamu eyali mu Sodomu, n’ebintu bye ne bagenda nabyo kubanga naye yali abeera mu Sodomu.
Ibulaamu Awonya Lutti
13 (AM)Awo Omwamoli omu eyali abadduseeko n’ajja n’ategeeza Ibulaamu Omwebbulaniya, eyali abeera okumpi n’emivule gya Mamule, muganda wa Esukoli ne Aneri abaalina endagaano ne Ibulaamu. 14 (AN)Ibulaamu bwe yawulira nti muganda we atwalibbwa nga munyage, n’akulembera basajja be abatendeke, abazaalirwa mu nnyumba ye, ebikumi bisatu mu kkumi na munaana, ne bawondera abaatwala Lutti okutuuka e Ddaani. 15 Mu kiro n’ayawulamu eggye lye, n’abalumba, ye n’abaddu be ne bagoberera abantu bali okutuuka e Kkoba, ku luuyi olw’obukiikakkono obwa Damasiko. 16 Awo n’akomyawo ebintu byonna, era n’akomyawo ne muganda we Lutti n’ebintu bye n’abakazi n’abantu bonna.
Merukizeddeeki Asabira Ibulaamu Omukisa
17 (AO)Ibulaamu bwe yakomawo ng’amaze okuwangula Kedolawomeeri ne bakabaka abaali naye, kabaka wa Sodomu n’afuluma okumusisinkana mu kiwonvu ky’e Save (kye kiwonvu kya kabaka). 18 (AP)Ne Merukizeddeeki kabaka wa Ssaalemi[f] eyali kabona wa Katonda Ali Waggulu Ennyo n’aleeta omugaati n’envinnyo. 19 (AQ)N’asabira Ibulaamu omukisa ng’agamba nti,
“Katonda Ali Waggulu Ennyo
Omutonzi w’eggulu n’ensi awe Ibulaamu omukisa.
20 (AR)Era Katonda Ali Waggulu Ennyo agulumizibwe
agabudde abalabe bo mu mikono gyo.”
Awo Ibulaamu n’amuwa ekitundu eky’ekkumi ekya buli kimu.
21 Ne kabaka wa Sodomu n’agamba Ibulaamu nti, “Mpa abantu, gwe otwale ebintu.”
22 (AS)Naye Ibulaamu n’addamu kabaka wa Sodomu nti, “Ndayira Mukama Katonda Ali Waggulu Ennyo, Omutonzi w’eggulu n’ensi, 23 (AT)sijja kutwala wadde akawuzi oba akakoba akasiba engatto, oba ekintu kyonna ekikyo, oleme okugamba nti, ‘Ngaggawazza Ibulaamu.’ 24 Sijja kubaako kye ntwala; okuggyako ebyo abavubuka bye balidde, n’omugabo gw’abasajja abaagenda nange; leka Aneri ne Esukoli ne Mamule bo batwale omugabo gwabwe.”
Footnotes
- 11:31 Kalani kibuga ekisangibwa mu Mesopotamiya, era ky’ekifo ekikulu awasinzibwa omwezi, ng’ekibuga ky’e Uli bwe kiri.
- 12:9 Negevu kitegeeza ensi enkalu, era lwe lusenyi oludda mu bukiikaddyo obwa Yerusaalemi n’okudda mu ddungu.
- 12:10 Misiri teyakosebwa kyeya, kubanga baalina enzizi ezaafukiriranga ebirime byabwe.
- 14:1 Sinaali ye Babulooni
- 14:5 Abaleefa kitegeeza Agantu aganene ennyo.
- 14:18 Ssaalemi lye liyinzika okuba nga ly’erinnya ekkadde erya Yerusaalemi.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.