Add parallel Print Page Options

Okuttibwa kw’Abasinza bakatonda abalala

Awo ne mpulira ng’akoowoola n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Muleete abakuumi b’ekibuga wano, buli omu n’ekyokulwanyisa kye mu mukono gwe.” (A)Ne ndaba abasajja mukaaga nga bava ku luuyi olw’omulyango ogw’engulu, ogutunudde mu bukiikakkono, buli omu ng’akutte ekissi mu ngalo ze; nga ku bo kuliko omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu. Ne bayingira ne bayimirira ku mabbali g’ekyoto eky’ekikomo.

(B)Awo ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri ne kiva mu bakerubi mwe kyali, ne kidda ku mulyango gwa yeekaalu. Mukama n’ayita omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu, (C)n’amugamba nti, “Genda ng’oyitaayita mu kibuga kyonna ekya Yerusaalemi, oteeke akabonero ku byenyi by’abeesisiwadde era abanakuwadde olw’ebintu byonna eby’ekivve ebikolebwa wakati mu kyo.”

(D)Abalala n’abagamba, nga mpuliriza nti, “Mumugoberere muyiteeyite mu kibuga mutte, nga temusaasira newaakubadde okulaga ekisa. (E)Mutte abasajja abakadde, abavubuka n’abawala, n’abakyala n’abaana abato, naye temukwata ku aliko akabonero. Mutandikire mu watukuvu wange.” Ne batandikira ku bakadde abaali mu maaso ga yeekaalu.

N’abagamba nti, “Eyeekaalu mugyonoone, mujjuze empya abattibwa, mugende!” Ne bafuluma ne bagenda nga batta mu kibuga kyonna. (F)Bwe baali nga batta ne bandeka awo nzekka, ne nvuunama wansi, ne nkaaba nga njogera nti, “Ayi Mukama Katonda, olizikiriza ekitundu kya Isirayiri ekyasigalawo kyonna mu busungu bw’ofuse ku Yerusaalemi?”

(G)N’anziramu nti, “Ekibi ky’ennyumba ya Isirayiri ne Yuda kisusse nnyo; ensi ejjudde okuyiwa omusaayi, n’ekibuga kijjudde obutali bwenkanya. Boogera nti, ‘Mukama yayabulira ensi, era Mukama takyalaba.’ 10 (H)Kyendiva nema okubatunuulira n’eriiso erisaasira newaakubadde okubalaga ekisa, naye ndileeta akabi ku mitwe gyabwe olw’ebikolwa byabwe ebibi.”

11 Awo omusajja ayambadde linena nga yeesibye ebyokuwandiisa ku lukugunyu n’akomyawo obubaka eri Mukama nti, “Nkoze nga bwe walagidde.”