Add parallel Print Page Options

13 (A)Awo n’aŋŋamba nti, “Ebisenge eby’ennyumba eyolekedde yeekaalu eby’omu Bukiikakkono n’eby’ennyumba eyolekedde yeekaalu eby’omu Bukiikaddyo, by’ebisenge bya bakabona. Bakabona abaweereza mu maaso ga Mukama gye banaaliiranga ebintu ebitukuvu ennyo; era eyo gye banaatekanga ebiweebwayo ebitukuvu ennyo, n’ekiweebwayo eky’obutta n’ebiweebwayo olw’ekibi, n’ebiweebwayo olw’omusango, kubanga ekifo kitukuvu.

Read full chapter

12 Ekizimbe ekyali mu luggya emanju wa yeekaalu, lwe luuyi olw’ebugwanjuba kyali obugazi mita amakumi asatu mu ttaano, n’omubiri gw’ekisenge eky’ekizimbe ekyo gwali mita bbiri n’ekitundu okwebungulula, n’obuwanvu bwakyo mita amakumi ana mu ttaano.

13 Oluvannyuma omusajja n’apima yeekaalu, ng’obuwanvu eri mita amakumi ataano, n’oluggya lwa yeekaalu n’ekizimbe n’ebisenge byakwo byali obuwanvu mita amakumi ataano. 14 (A)Obugazi bw’oluggya lwa yeekaalu ku luuyi olw’ebuvanjuba ng’ogasseeko emiryango wa yeekaalu waali mita amakumi ataano.

Read full chapter

Oluggya olw’Ebweru

17 (A)Awo omusajja n’andeeta mu luggya olw’ebweru; ne ndaba ebisenge ebimu n’olubalaza ebyazimbibwa, ebisenge ebyo ebyazimbibwa ku lubalaza mu bbugwe okwetooloola oluggya lwonna, byali amakumi asatu.

Read full chapter