Add parallel Print Page Options

N’apima ekisenge ekya yeekaalu, ng’omubiri gwakyo guli mita ssatu, na buli kisenge eky’ebbali okwebungulula yeekaalu obugazi nga kiri mita bbiri. (A)Ebisenge eby’ebbali byali emyaliiro esatu, buli kimu nga kiri waggulu wa kinnaakyo, ku buli mwaliiro kwaliko ebisenge amakumi asatu. Waaliwo empagi ezawaniriranga ebisenge ebyo naye ng’empagi ezo teziyingira mu kisenge ekya yeekaalu. (B)Ebisenge eby’ebbali okwebungulula yeekaalu byagendanga nga byeyongera okugaziwa buli mwaliiro ogweyongerangayo waggulu, era amadaala gaazo agalinnyirwako gaava wansi okutuuka ku mwaliiro ogusembayo nga guyita ku mwaliiro ogwa wakati.

Read full chapter