Add parallel Print Page Options

21 (A)Obusenge bwagwo obw’abakuumi, busatu oluuyi n’oluuyi, n’ebbanga wakati waabwo, n’ekisasi kyagwo, byalina ebipimo bye bimu ng’omulyango ogusooka. Omulyango ogwo gwali mita amakumi abiri mu ttaano obuwanvu, n’obugazi mita kkumi na bbiri n’ekitundu. 22 (B)Amabanga gaagwo amafunda, n’ekisasi kyagwo, n’ebifaananyi eby’enkindu ebyagwo byalina ebipimo bye bimu ng’eby’omulyango ogw’Ebuvanjuba. Amadaala musanvu ge galinnyibwanga okutuuka ku mulyango ogw’Obukiikakkono. Gwalina ekisasi ekyali ku nkomerero y’omulyango ogwo.

Read full chapter

(A)Mu kisenge ekinene n’assaamu embaawo ez’emiberosi, ne munda waakyo n’akisiiga ne zaabu ennongoofu, ate era n’akitimba n’enkindu n’emikuufu.

Read full chapter

26 (A)Ku bisenge eby’ebbali eby’ekisasi kwaliko amadirisa amawanvuyirivu nga mafunda agaali gooleddwako ebifaananyi eby’enkindu ku buli luuyi. N’ebisenge eby’ebbali ebya yeekaalu byalina obusasi.

Read full chapter