Add parallel Print Page Options

(A)okizingize, okizimbeko bbugwe okukyetooloola, okituumeko ekifunvu, era oteekewo ensiisira okukyetooloola n’ebifunvu bye banaatomera enjuuyi zonna.

(B)“Oluvannyuma oddire olukalango olw’ekyuma, oluteeke okuba bbugwe ow’ekyuma wakati wo n’ekibuga, okyuke okitunuulire. Kiriba mu mbeera ey’okuzingizibwa, era naawe kizingize. Ako kaliba kabonero eri ennyumba ya Isirayiri.

“N’oluvannyuma oligalamira ku lubiriizi lwo olwa kkono n’oddira ekibi ky’ennyumba ya Isirayiri okyeteekeko. Olyetikka ekibi kyabwe ennaku z’olimala ng’ogalamidde ku lubiriizi lwo.

Read full chapter