Add parallel Print Page Options

(A)Balirekebwawo
    wakati mu nsi endala ezalekebwawo,
n’ebibuga byabwe
    biribeera ebimu ku ebyo ebyasaanawo.
Olwo balimanya nga nze Mukama
    bwe ndikuma ku Misiri omuliro,
    n’ababeezi baayo bonna balibetentebwa.

Read full chapter

13 (A)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ndizikiriza bakatonda baabwe
    ne nzikiriza bakatonda abakole n’emikono mu Noofu.
Temulibaamu mulangira mu nsi ey’e Misiri nate,
    era ensi yonna ndigireetako entiisa.
14 (B)Ndifuula Pasulo okuba amatongo,
    ne Zowani ndikikumako omuliro
    ne mbonereza n’ab’omu No.
15 Ndifuka ekiruyi kyange ku Sini,
    ekigo kya Misiri eky’amaanyi,
    era ndimalawo n’ebibinja bya No.
16 Ndikuma omuliro ku Misiri,
    ne Sini baliba mu bubalagaze bungi,
ne No balitwalibwa omuyaga,
    ne Noofu baliba mu kubonaabona okw’olubeerera.
17 (C)Abavubuka ab’e Oni n’ab’e Pibesesi
    baligwa n’ekitala,
    n’ebibuga biriwambibwa.
18 (D)Enzikiza eriba ku Tapaneese emisana,
    bwe ndimenya ekikoligo kya Misiri,
    era n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwaamu.
Alibikkibwa n’ebire
    era n’ebyalo bye biriwambibwa.
19 Bwe ntyo bwe ndibonereza Misiri,
    bategeere nga nze Mukama.’ ”

Read full chapter