Add parallel Print Page Options

11 (A)Ye n’eggye lye, ensi esinga okuba enkambwe mu mawanga,
    balireetebwa okuzikiriza ensi.
Baligyayo ebitala byabwe
    ne bajjuza ensi ey’e Misiri emirambo.
12 (B)Ndikaza emigga gya Kiyira,
    ne ntunda ensi eri abantu ababi;
nga nkozesa bannaggwanga,
    ndizikiriza ensi na buli kintu ekigirimu.

Nze Mukama nkyogedde.

13 (C)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ndizikiriza bakatonda baabwe
    ne nzikiriza bakatonda abakole n’emikono mu Noofu.
Temulibaamu mulangira mu nsi ey’e Misiri nate,
    era ensi yonna ndigireetako entiisa.

Read full chapter