Ezeekyeri 22:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)“Omwana w’omuntu, olikisalira omusango? Olisalira omusango ekibuga ekiyiwa omusaayi? Kale mulumbe wakati mu bikolwa bye byonna eby’ekivve;
Read full chapter
Obadiya 11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Ku lunaku lwe wayimirira ku bbali n’otofaayo,
nga banyaga obugagga bwa Isirayiri,
ne bannaggwanga ne bayingira mu miryango gye,
ne bakuba obululu okulaba atwala Yerusaalemi,
wali omu ku bo.
Nakkumu 3:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Kyawambibwa, ne kitwalibwa mu buwaŋŋanguse.
Abaana bwakyo abawere babetentebwa mu ntandikwa ya buli luguudo.
Abakungu baakyo baakubirwa obululu,
n’abasajja be ab’amaanyi baasibibwa mu njegere.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.