Add parallel Print Page Options

(A)“ ‘Omuyisirayiri yenna oba omugenyi abeera mu Isirayiri bw’ananvangako, n’ateeka bakatonda abalala ku mutima gwe n’ateeka n’ebyesittaza mu maaso ge, ate n’agenda eri nnabbi okunneebuuzaako, nze Mukama nze nnaamwanukulanga.

Read full chapter

19 (A)“ ‘Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo,
    ne zaabu yaabwe eriba ekitali kirongoofu;
effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe
    tebiriyinza kubalokola
    ku lunaku lwa Mukama olw’obusungu bwe.
Era tebalikkuta
    newaakubadde okukkusibwa.
    Ebyo bye byabaleetera okugwa mu kibi.

Read full chapter

15 (A)Bwe munaayimusanga emikono gyammwe musabe
    nnaabakwekanga amaaso gange,
era ne bwe munaasabanga ennyo
    siiwulirenga
kubanga emikono gyammwe gisaabaanye omusaayi.

Read full chapter

31 (A)Bwe muwaayo ebirabo, ne muwaayo n’abaana bammwe mu muliro ng’ebiweebwayo, mweyongera okweyonoona ne bakatonda bammwe abalala bonna. Nnyinza okubakkiriza okunneebuuzaako mmwe ennyumba ya Isirayiri? Nga bwe ndi omulamu temujja kunneebuuzaako, bw’ayogera Mukama Katonda.

Read full chapter