Ezeekyeri 7:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)“ ‘Balisuula effeeza yaabwe mu nguudo,
ne zaabu yaabwe eriba ekitali kirongoofu;
effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe
tebiriyinza kubalokola
ku lunaku lwa Mukama olw’obusungu bwe.
Era tebalikkuta
newaakubadde okukkusibwa.
Ebyo bye byabaleetera okugwa mu kibi.
Zeffaniya 1:2-3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okulabula kw’Omusango n’Okuzikirizibwa kwa Yuda
2 (A)“Ndizikiririza ddala byonna okuva ku nsi,” bw’ayogera Mukama.
3 (B)“Ndizikiriza abantu wamu n’ensolo;
ndizikiriza ebinyonyi eby’omu bbanga
n’ebyennyanja;
ababi balisigaza ntuumu ya kafakalimbo;
bwe ndimalawo abantu okuva ku nsi,”
bw’ayogera Mukama.
Zeffaniya 3:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Noolwekyo munnindirire,” bw’ayogera Mukama.
Olunaku lwe ndiyimirira ne ntegeeza byonna
kubanga mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga,
ndireeta obwakabaka wamu
okubayiwako obusungu bwange,
n’ekiruyi kyange kyonna.
Omuliro ogw’obuggya bwange
gulisaanyaawo ensi yonna.
Olubereberye 6:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 Awo Mukama n’agamba nti, “Ndiggya ku nsi omuntu gwe natonda, ndisaanyaawo omuntu, n’ensolo n’ebinyonyi, kubanga nejjusizza olw’okubitonda.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.