Okuva 1-5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Abayisirayiri Babonyaabonyezebwa
1 (A)Gano ge mannya ga batabani ba Isirayiri, era ye Yakobo, abajja naye mu Misiri; buli omu n’ab’omu nnyumba ye:
2 Lewubeeni, ne Simyoni, ne Leevi ne Yuda,
3 ne Isakaali, ne Zebbulooni, ne Benyamini,
4 ne Ddaani, ne Nafutaali, ne Gaadi, ne Aseri.
5 (B)Abaana bonna awamu Yakobo yennyini be yazaala baali bawera nsanvu[a]; Yusufu ye, yali yabeera dda mu Misiri.
6 (C)Awo Yusufu n’afa; ne baganda be ne bonna ab’omulembe ogwo ne bafa. 7 (D)Naye Abayisirayiri ne bazaala nnyo, ne baala, ne bayitirira obungi, era ne baba ba maanyi nnyo; ne bajjula ekitundu ekyo mwe baali.
8 Awo ne waddawo kabaka omuggya mu Misiri ataamanya Yusufu. 9 (E)N’agamba abantu be nti, “Abayisirayiri batuyitiriddeko obungi era ba maanyi. 10 (F)Ka tubasalire amagezi baleme kweyongera bungi. Kubanga singa wagwawo olutalo ne beegatta n’abalabe baffe, ne batulwanyisa, balituddukako ne bava mu nsi eno.”
11 (G)Bwe batyo ne babateekako bannampala bababonyeebonye n’emirimu egy’obuwaze; ne bazimbira Falaawo ebibuga eby’amaterekero, Pisomu ne Lamusesi. 12 Naye gye baakoma okutuntuzibwa, ate gye baakoma okweyongera obungi, ne basaasaana wonna. Abamisiri ne bakyawa abaana ba Isirayiri ate nga bwe babatya. 13 (H)Ne bongera okutuntuza abaana ba Isirayiri n’obukambwe. 14 (I)Obulamu bw’Abayisirayiri ne bubakaayirira nga bakozesebwa ng’abaddu; nga batabula ebbumba okukola amatoffaali; n’emirimu egya buli ngeri egikolebwa mu nnimiro. Mu mirimu egyo gyonna baabakozesanga n’amaanyi era n’obukambwe.
Falaawo Awa Abazaalisa Ekiragiro
15 Awo kabaka w’e Misiri n’ayogera n’abazaalisa b’Abaebbulaniya, amannya gaabwe Sifira ne Puwa[b], n’abagamba nti, 16 “Bwe mubanga muzaalisa abakazi Abaebbulaniya, ne mulaba ng’omwana wabulenzi, mumuttanga bussi, naye bw’abanga owoobuwala, mumulekanga n’alama.” 17 (J)Naye abazaalisa baali batya Katonda, nga bamussaamu ekitiibwa, ebyo kabaka w’e Misiri bye yabalagira ne batabikolerako, n’abaana abalenzi nabo ne babaleka ne balama. 18 Kabaka w’e Misiri n’ayita abazaalisa, n’ababuuza nti, “Kiki ekibakozesezza bwe mutyo, okuleka abaana abalenzi ne balama?”
19 (K)Abazaalisa, ne baddamu Falaawo nti, “Abakazi Abaebbulaniya tebali ng’abakazi Abamisiri; bo balamu bulungi era ba maanyi; abazaalisa we bagendera okubatuukako nga bamaze okuzaala.”
20 (L)Katonda, n’ayisanga bulungi abazaalisa n’abawa emikisa. Abaana ba Isirayiri ne beeyongera nnyo obungi era ne baba ba maanyi nnyo. 21 (M)Olwokubanga abazaalisa bassangamu Katonda ekitiibwa, nga bamutya, n’abawa ezzadde.
22 (N)Falaawo n’alyoka alagira abantu be bonna nti, “Buli mwana wabulenzi Abaebbulaniya gwe banaazaalanga mumusuulanga mu mugga Kiyira, naye owoobuwala mumulekanga.”
Okuzaalibwa kwa Musa
2 (O)Awo olwatuuka omusajja ow’omu kika kya Leevi, n’agenda n’awasa omukazi, nga naye Muleevi. 2 (P)Omukazi oyo n’aba olubuto n’azaala omwana mulenzi; naye bwe yalaba nga mwana alabika obulungi ennyo, n’amukwekera emyezi esatu. 3 Naye bwe yatuusa ekiseera nga takyasobola kumukweka, n’amufunira ekibaya eky’ebitoogo, n’akisiigako ebitosi ne koolaasi; omwana n’amuteeka omwo, n’akissa mu bitoogo ku lubalama lw’omugga Kiyira. 4 (Q)Mwannyina w’omwana n’ayimiriranga nga yeesuddeko akabanga, alabe ebinaamutuukangako.
5 (R)Awo muwala wa Falaawo n’aserengeta ku mugga Kiyira okunaaba; abaweereza be abawala ne batambulira ku lubalama lw’omugga; muwala wa Falaawo n’alaba ekibaya mu bitoogo, n’atuma omu ku bawala okukikima, n’akireeta. 6 Bwe yakisaanukulako, n’alabamu omwana. Omwana yali akaaba, n’amusaasira nnyo, n’agamba nti, “Ono y’omu ku baana abawere aba Baebbulaniya.”
7 Awo mwannyina w’omwana n’asembera, n’agamba muwala wa Falaawo nti, “Ŋŋende nkuyitire omulezi w’abaana Omwebbulaniya ajje akumulerere?” 8 Muwala wa Falaawo n’amuddamu nti, “Kale, genda.” Omuwala mwannyina w’omwana oyo bwe yagenda, yaleeta nnyina wa mwana! 9 Muwala wa Falaawo n’agamba nnyina w’omwana nti, “Twala omwana ono omunderere, nnaakusasulanga.” Omukazi oyo n’atwala omwana n’amulera. 10 Omwana bwe yakula, n’amutwalira muwala wa Falaawo, n’afuuka omwana wa muwala wa Falaawo. N’amutuuma erinnya Musa, n’agamba nti, “Kubanga namuggya mu mazzi.”
Musa Addukira e Midiyaani
11 (S)Awo olwatuuka, Musa ng’amaze okukula, n’agendako mu bantu be Abaebbulaniya, n’alaba emirimu emikakanyavu gye baali bakozesebwa. N’alaba Omumisiri ng’akuba Omwebbulaniya, omuntu ow’omu baganda be. 12 Awo Musa n’amagamaga, bwe yalaba nga teri muntu mulala amulaba, n’akwata Omumisiri n’amutta, n’amukweka mu musenyu. 13 (T)Bwe yaddayo enkeera, n’alaba abasajja babiri Abaebbulaniya nga balwana. N’abuuza oyo eyali asobezza nti, “Lwaki okuba Mwebbulaniya munno?” 14 (U)Omusajja n’amuddamu nti, “Ani eyakulonda okuba omufuzi waffe era omulamuzi waffe? Oyagala kunzita nga bwe watta Omumisiri?” Musa n’atya, n’ayogera mu mutima gwe nti, “Ekintu kye nakola kirabika kyategeerebwa.”
15 (V)Awo Falaawo bwe yakiwulira, n’agezaako okutta Musa. Naye Musa n’aviira Falaawo, n’addukira mu nsi ya Midiyaani;[c] n’atuula awali oluzzi. 16 (W)Waaliwo kabona mu Midiyaani eyalina abaana be abawala musanvu, ne bajja okusena amazzi bajjuze ebyesero banywese endiga za kitaabwe. 17 (X)Kyokka ne wabaawo abasumba ne bajja ne babagobawo; naye Musa n’asituka n’abalwanirira, n’anywesa endiga zaabwe.
18 (Y)Abawala bwe baddayo eka eri kitaabwe Leweri,[d] n’ababuuza nti, “Nga mukomyewo mangu leero?” 19 Ne bamuddamu nti, “Omusajja Omumisiri atulwaniridde ng’abasumba batujoogereza; y’atusenedde n’amazzi n’anywesa ekisibo kyaffe.” 20 (Z)N’abuuza bawala be nti, “Ali ludda wa? Ye lwaki mumuleseeyo? Mumuyite ajje alye ku mmere.”
21 (AA)Musa n’akkiriza. N’abeerera ddala mu maka ga Leweri. Leweri n’awa Musa muwala we Zipola okuba mukyala we. 22 (AB)Zipola n’amuzaalira omwana owoobulenzi. Musa n’amutuuma erinnya Gerusomu, ng’agamba nti, “Kubanga ndi mugwira mu nsi etali yange.”
23 (AC)Awo nga wayiseewo ebbanga ggwanvu, kabaka w’e Misiri n’afa. Abaana ba Isirayiri ne basindanga era ne bakaabanga olw’obuddu bwe baalimu, n’okukaaba kwabwe ne kutuuka eri Katonda. 24 (AD)Katonda n’awulira okusinda kwabwe. Katonda n’ajjukira endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo. 25 (AE)Katonda n’atunuulira abaana ba Isirayiri, n’ategeera okubonaabona kwabwe.
Okuyitibwa kwa Musa
3 (AF)Awo olwatuuka, Musa bwe yali ng’alunda ekisibo ky’endiga za mukoddomi we Yesero, kabona w’e Midiyaani, n’atwala ekisibo ku ludda olw’ebugwanjuba olw’eddungu; n’atuuka ku lusozi lwa Katonda oluyitibwa Kolebu[e]. 2 (AG)Malayika wa Mukama n’amulabikira ng’asinziira mu muliro ogwaka, mu makkati g’ekisaka. Musa n’atunuulira ekisaka, n’alaba nga kyaka naye nga tekisiriira. 3 Musa n’ayogera mu mwoyo gwe nti, “Leka nneetoolooleko neetegereze ekintu kino ekitali kya bulijjo, eky’ekitalo, ekireetedde ekisaka obutasiriira.”
4 Mukama bwe yalaba nga Musa agenze okwetegereza, Katonda n’amuyita ng’asinziira mu kisaka wakati nti, “Musa, Musa!” Musa n’ayitaba nti, “Nze nzuuno.” 5 (AH)Katonda n’amugamba nti, “Teweeyongera kusembera. Ggyamu engatto zo, kubanga ekifo w’oyimiridde kitukuvu.” 6 (AI)Ne yeeyongera n’amugamba nti, “Nze Katonda wa kitaawo, era nze Katonda wa Ibulayimu, nze Katonda wa Isaaka, era nze Katonda wa Yakobo.”
Musa bwe yawulira ebyo n’akweka amaaso ge, kubanga yatya okutunuulira Katonda.
7 (AJ)Awo Mukama Katonda n’ayogera nti, “Ndabidde ddala okubonaabona kw’abantu bange abali mu Misiri. Mpulidde ebiwoobe byabwe olw’abo ababatuntuza ng’abaddu; era ntegedde okubonaabona kwabwe. 8 (AK)Kyenvudde nzika, mbawonye effugabbi ery’Abamisiri, era mbaggye mu nsi eyo, mbaleete mu nsi ennungi era engazi, y’ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki; kaakano mwe muli Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakiivi n’Abayebusi. 9 (AL)Kale mpulidde okukaaba kw’abaana ba Isirayiri, era ndabye ng’Abamisiri bwe bababonyaabonya. 10 (AM)Noolwekyo, jjangu nkutume ewa Falaawo, oggyeyo abantu bange abaana ba Isirayiri mu Misiri.”
11 (AN)Naye Musa n’agamba Katonda nti, “Nange nze ani agenda ewa Falaawo nziggyeyo abaana ba Isirayiri mu Misiri?” 12 (AO)Katonda n’amuddamu nti, “Ddala, nnaabeeranga naawe. Era kino kye kikakasa nti nze nkutumye: Bw’olimala okuggya abantu abo mu Misiri, mulisinziza Katonda ku lusozi luno.” 13 Awo Musa n’abuuza Katonda nti, “Bwe ndituuka mu baana ba Isirayiri ne mbategeeza nti, ‘Katonda wa bajjajjammwe antumye gye muli;’ nabo ne bambuuza nti, ‘Erinnya lye ye ani?’ Ndibaddamu ntya?”
14 (AP)Katonda n’agamba Musa nti, “Ndi nga bwe Ndi,” n’ayongera nti, “Bw’otyo bw’onootegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Ndi y’antumye gye muli.’ ”
15 (AQ)Katonda n’ayongera n’agamba Musa nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, ‘Mukama, Katonda wa bajjajjammwe: Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era nga ye Katonda wa Yakobo, y’antumye gye muli.’
“Eryo lye linnya lyange ery’olubeerera,
era lye linnya lye nnajjuukirirwangako
mu buli mulembe ogunaddiriranga gunnaagwo.
16 (AR)“Genda okuŋŋaanye abakadde ba Isirayiri, obategeeze nti, ‘Mukama, Katonda wa bajjajjammwe, Katonda wa Ibulayimu, era owa Isaaka, era owa Yakobo, yandabikira, n’aŋŋamba nti, Ntunuulidde abantu bange, ne ndaba ebibakolebwa mu Misiri. 17 (AS)Kyenvudde nsuubiza okubaggya mu kubonaabona kwe balimu mu Misiri, mbaleete mu nsi y’Abakanani, n’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abaperezi, n’Abakiivi, n’Abayebusi; y’ensi ekulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.’
18 (AT)“Abakadde ba Isirayiri bagenda kuwuliriza by’ogamba. Kale, ggwe n’abakadde ba Isirayiri muligenda eri kabaka wa Misiri ne mumugamba nti, ‘Mukama, Katonda w’Abaebbulaniya yeeraga gye tuli. Tukkirize tugende mu ddungu, olugendo lwa nnaku ssatu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe.’ 19 (AU)Naye mmanyi nga kabaka w’e Misiri talibakkiriza kugenda, wabula ng’awalirizibbwa n’amaanyi mangi. 20 (AV)Kyendiva nkozesa amaanyi gange, ne mbonereza Misiri n’ebyamagero bye ndikolera mu nsi omwo; n’oluvannyuma alibakkiriza ne mugenda.
21 (AW)“Era Abamisiri ndibaagazisa abantu abo; bwe mutyo bwe muliba musitula, temulivaayo ngalo nsa. 22 (AX)Buli mukazi Omuyisirayiri alisaba omukazi Omumisiri muliraanwa we, n’oyo bwe basula mu nju emu, ebitemagana ebya ffeeza n’ebya zaabu, n’engoye ez’okwambala. Ebyo byonna mulibyambaza batabani bammwe ne bawala bammwe; Abamisiri ne muleka nga mubakalizza.”
Mukama Awa Musa Obuyinza Okukola Ebyamagero
4 (AY)Musa n’addamu nti, “Tebagenda kunzikiriza, wadde okuwuliriza ebyo bye mbagamba: kubanga bagenda kwogera nti, Mukama takulabikiranga.”
2 (AZ)Awo Mukama n’amubuuza nti, “Ekyo kiki ekiri mu ngalo zo?”
N’addamu nti, “Muggo.”
3 Mukama Katonda n’amugamba nti, “Gusuule wansi.”
Musa n’agusuula wansi; ne gufuuka omusota, n’agudduka! 4 Mukama n’agamba Musa nti, “Golola omukono gwo ogukwate akawuuwo ogusitule.” N’agolola omukono gwe n’agukwata, ne gufuuka omuggo mu mukono gwe. 5 (BA)Mukama n’amugamba nti, “Bw’olikola bw’otyo bagenda kukukkiriza, era balitegeera nga Mukama Katonda wa bajjajjaabwe, Katonda wa Ibulayimu, era Katonda wa Isaaka, era Katonda wa Yakobo, yakulabikira.”
6 (BB)Mukama n’amugamba nate nti, “Yingiza omukono gwo munda mu kyambalo kyo.” N’ayingiza omukono gwe munda mu kyambalo kye: bwe yaguggyaayo, laba, nga gujjudde ebigenge nga gutukula ng’omuzira.
7 (BC)Ate n’amugamba nti, “Zzaayo omukono gwo munda mu kyambalo kyo.” Musa n’azzaayo omukono gwe mu kyambalo kye. Bwe yaguggyaayo, laba nga gufuuse mulamu ng’omubiri gwe ogwa bulijjo.
8 Mukama n’agamba Musa nti, “Bwe batalikukkiririza ku kabonero akasoose, balikukkiririza ku kabonero akookubiri. 9 (BD)Bwe bagaananga okukukkiriza nga bamaze okulaba obubonero obwo bwombi, osenanga amazzi mu mugga n’ogayiwa ku lukalu; amazzi ago g’olisena mu mugga, galifuuka omusaayi ng’ogayiye ku lukalu.”
10 (BE)Awo Musa n’agamba Mukama nti, “Ayi Mukama wange, siri mwogezi mulungi okuva edda n’edda, wadde ne mu kiseera kino ggwe kaayogerera nange, omuddu wo; njogera nnembeggerera ate nga bwe nnaanaagira.” 11 (BF)Mukama n’amuddamu nti, “Ani yakola akamwa k’omuntu? Ani yatonda bakasiru, ne bakiggala, n’abatunula, ne bamuzibe? Si nze, Mukama? 12 (BG)Kaakano, genda! Nnaakuyambanga ng’oyogera, era nnaakuyigirizanga by’onooyogeranga.”
13 Naye Musa n’agamba nti, “Mukama wange, nkwegayiridde tuma omuntu omulala.” 14 (BH)Mukama n’asunguwalira nnyo Musa, n’amugamba nti, “Muganda wo Alooni Omuleevi, taliiwo? Mmanyi nga mwogezi mulungi; era, laba, ajja gy’oli, era bw’anaakulabako ajja kusanyuka mu mutima gwe. 15 (BI)Ggwe ojja kwogeranga naye, nze nnaakutegeezanga ky’onoomugambanga, nange n’abayambanga mwembi, ne mbayigiriza eky’okukola. 16 (BJ)Y’anaakwogereranga eri abantu, ng’abategeeza bye wandiyogedde; ggwe n’oba nga Katonda gy’ali, ng’omutegeezanga by’anaayogeranga. 17 (BK)Era oligenda n’omuggo guno, ng’ogukutte mu mukono gwo; gw’onookozesanga ebyamagero.”
18 Awo Musa n’addayo eri Yesero, kitaawe wa mukazi we n’amugamba nti, “Nkusaba onzikirize ŋŋende ndabe obanga baganda bange e Misiri bakyali balamu.” Yesero n’addamu Musa nti, “Genda mirembe.”
Musa Addayoko e Misiri
19 (BL)Awo Mukama n’ayogera ne Musa e Midiyaani nti, “Genda, oddeyo e Misiri kubanga abantu bonna abaali baagala okukutta, baafa.” 20 (BM)Musa n’addira mukyala we n’abaana be, n’abassa ku ndogoyi, n’asitula okuddayo mu nsi y’e Misiri, ng’akutte omuggo gwa Katonda mu ngalo ze.
21 (BN)Mukama n’agamba Musa nti, “Bw’oddangayo e Misiri, okoleranga ebyamagero ebyo byonna bye nkulaze, awali Falaawo. Nze ndikakanyaza omutima gwe, abantu bange aleme okubakkiriza okugenda. 22 (BO)Falaawo omugambanga bw’oti nti, Mukama agambye nti, ‘Isirayiri mutabani wange, ye mwana wange omubereberye; 23 (BP)era nkulagira oleke omwana wange agende ampeereze; naye singa ogaana okumuleka okugenda, laba, nditta mutabani wo omubereberye.’ ”
24 (BQ)Awo bwe baali bagenda nga batuuse ku nnyumba y’abagenyi, Mukama n’amulabikira, n’ayagala okumutta. 25 (BR)Naye Zipola n’addira ejjinja eryogi, n’akomola omwana we, ekikuta n’akisuula ku bigere bya Musa, n’amugamba nti, “Oli baze wa musaayi!” 26 Awo Mukama n’amuleka. Mu kaseera ako Zipola we yayogerera ku kukomola nti, “Baze wange ng’osaabye omusaayi!”
27 (BS)Awo Mukama n’agamba Alooni nti, “Genda mu ddungu, osisinkane Musa. N’agenda, n’amusanga ku lusozi lwa Katonda, ne bagwaŋŋana mu bifuba.” 28 (BT)Musa n’abuulira Alooni ebigambo byonna Mukama bye yali amutumye okwogera, n’obubonero bwonna obw’ebyamagero bwe yamulagira okukola.
29 (BU)Musa ne Alooni ne bagenda, ne bakuŋŋaanya abakulu abakulembeze b’abaana ba Isirayiri; 30 Alooni n’abategeeza byonna Mukama bye yagamba Musa; era n’abakolera n’obubonero, 31 (BV)ne bakkiriza. Era bwe baawulira nga Mukama yakyalira abaana ba Isirayiri, n’alaba okubonaabona kwabwe, ne bakoteka emitwe gyabwe ne basinza.
Falaawo Aziyiza Abayisirayiri Okuva mu Misiri
5 (BW)Oluvannyuma lw’ebyo, Musa ne Alooni ne bajja eri Falaawo, ne bamugamba nti, “Tutumiddwa Mukama Katonda wa Isirayiri ng’akugamba nti, ‘Leka abantu bange bagende, bankolere embaga mu ddungu.’ ”
2 (BX)Naye Falaawo n’abaddamu nti, “Mukama ye ani, mmugondere, nzikirize Abayisirayiri, sijja kubakkiriza kugenda.”
3 (BY)Ne bamugamba nti, “Katonda w’Abaebbulaniya yatulabikira. Tukusaba otuleke tugende olugendo lwa nnaku ssatu mu ddungu, tuweeyo ssaddaaka eri Mukama Katonda waffe;[f] aleme kututta ne kawumpuli, oba n’ekitala.”
4 (BZ)Naye kabaka w’e Misiri n’abagamba nti, “Mmwe Musa ne Alooni, lwaki mwagala okuggya abantu ku mirimu gyabwe? Muddeeyo mangu ku mirimu gyammwe.” 5 (CA)Falaawo n’ayongera n’agamba nti, “Kale, mulabe abantu nga bwe beeyongedde obungi mu ggwanga ate mmwe mubaziyiza kukola.”
6 Ku lunaku olwo lwennyini Falaawo n’alagira abagabi b’emirimu ne bannampala b’abantu[g] nti, 7 “Mulekeraawo okuwanga abantu essubi ery’okukozesa mu kubumba amatoffaali; mubaleke bagende beenoonyezenga essubi lyabwe.[h] 8 Naye mubalagire babumbenga obungi bw’amatoffaali bwe bumu nga ge babadde babumba; temukendeezanga ku muwendo ogwabasalirwa. Bagayaavu; era kyebava bankaabirira nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Katonda waffe.’ 9 Abasajja mubongereko ku mirimu gye mubasalira, bakole nnyo, balyoke baleme na kufa ku ebyo bye babalimbalimba.”
Abakozesa Bongera ku Mirimu gy’Abayisirayiri
10 Awo abakozesa ne bannampala ne bagenda ne bategeeza abantu nti, “Falaawo agambye bw’ati nti, ‘Sijja kwongera kubawanga ssubi. 11 Mugende mwenoonyeze essubi yonna gye musobola okuliraba; kyokka emirimu gyammwe tegijja kukendeezebwako n’akatono.’ ” 12 Bwe batyo abantu ne basaasaanira Misiri yonna okukuŋŋaanya obukonge bw’essubi ly’eŋŋaano bakozese obwo mu kifo ky’essubi. 13 Abakozesa ne babakuluusanyanga nga babalagira nti, “Emirimu gyammwe egibasalirwa buli lunaku, mugituukirize nga bwe mwakolanga ng’essubi likyabaweebwa.” 14 (CB)Bannampala Abayisirayiri, abaalondebwa abakozesa ba Falaawo, ne bakubibwanga nga bwe babuuzibwa nti, “Lwaki omuwendo gw’amatoffaali ogwa jjo n’ogwa leero ogwabasalirwa temugutuukirizza nga bwe mwakolanga edda?”
15 Awo bannampala Abayisirayiri ne bajja ne bajulira ewa Falaawo, ne bamugamba nti, “Ffe abaddu bo, lwaki otuyisizza bw’oti? 16 Abaddu bo tetuweebwa ssubi, kyokka tulagirwa nti, ‘Mubumbe amatoffaali!’ Abaddu bo tukubibwa, so ng’omusango guli mu bantu bo.” 17 (CC)Falaawo n’abaddamu nti, “Muli bagayaavu bugayaavu kyokka. Kyemuva mundeeberera nti, ‘Tuleke tugende tuweeyo ssaddaaka eri Mukama.’ 18 Kale, mugende mukole! Temujja kuweebwa ssubi, naye muteekwa okubumba omuwendo gw’amatoffaali omujjuvu nga bwe gwabasalirwa.”
19 Bannampala Abayisirayiri ne bategeera ng’akacwano kabatuukiridde, bwe baagambibwa nti, “Omuwendo gw’amatoffaali ogwabasalirwa okubumbanga buli lunaku tegujja kukendeezebwako.” 20 Bwe baava ewa Falaawo, baasanga Musa ne Alooni nga babalindiridde. 21 (CD)Bannampala ne babagamba nti, “Mukama abatunuulire era asalewo; kubanga mutufudde ekyenyinyalwa ewa Falaawo n’abaweereza be, era mubakwasizza ekitala okututta.”
Katonda Asuubiza Okununula Abayisirayiri
22 (CE)Awo Musa n’akomawo awali Mukama, n’ayogera nti, “Ayi Mukama, abantu bano lwaki obaleetedde emitawaana? Eyo y’ensonga kyewava ontuma? 23 (CF)Kubanga kasookedde ŋŋenda ne njogera ne Falaawo mu linnya lyo, abantu bo abataddeko ebizibu bingi; era abantu bo tobawonyezza n’akatono.”
Footnotes
- 1:5 ebiwandiiko ebimu bigamba nsanvu; kyokka ebiwandiiko ebyasangibwa mu Nnyanja ey’Omunnyo bigamba nsanvu mu bataano
- 1:15 Sifira ne Puwa baali abazaalisa Abaebbulaniya.
- 2:15 Midiyaani yali omu ku batabani ba Ibulayimu (Lub 25:2). Abamidiyaani baabeeranga obukiikakkono bwa Sinaayi.
- 2:18 Leweri lye lyali erinnya lya Yesero eddala.
- 3:1 Kolebu Olusozi olwo era ye Sinaayi.
- 5:3 Abamisiri baatwalanga ensolo ng’ente okuba ensolo ezawongebwa, era ekyo kye kyagendererwa mu kugenda olugendo okuva awaali Abamisiri, okuwaayo ssaddaaka (laba 8:22)
- 5:6 Abagabi b’emirimu baali Bamisiri, ate nga bannampala b’abantu Bayisirayiri.
- 5:7 Amatoffaali gakazibwanga mu musana, essubi nga likozesebwa okwongera okugagumya. Mu biseera ebyamakungula, ebitundu ebya waggulu empeke kwe zibeera bye byatemebwanga, ebikolo ebya wansi ne birekebwa mu nnimiro. Ebikolo ebyo ebya wansi, ebyasigalanga mu nnimiro, Falaawo bye yabagamba bateme okubumba amatoffaali.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.