Add parallel Print Page Options

26 Era okole empeta bbiri eza zaabu, ozitunge ku mikugiro gy’eky’omu kifuba ku luuyi olw’omunda oluliraanye ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. 27 Era okole empeta bbiri eza zaabu oziteeke mu maaso, mu bitundu ebya wansi eby’eby’okubibegabega byombi eby’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi, wagguluko okumpi n’oluzizi lw’omusipi olw’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi. 28 Empeta ez’oku kyomukifuba zisibwe wamu n’empeta z’ekkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi n’akaguwa aka bbululu, kagattibwe n’olukoba, olw’omu kifuba luleme kutaggulukuka ku kkanzu ey’obwakabona eyitibwa efodi.

Read full chapter