Add parallel Print Page Options

Kabaka Awa Ekiragiro Obutatta Bayudaaya

(A)Awo ku lunaku olwo Kabaka Akaswero n’awa Nnabagereka Eseza ebintu byonna[a] ebya Kamani omulabe w’Abayudaaya. Eseza n’ategeeza Kabaka nti alina oluganda ku Moluddekaayi, era okuva mu kiseera ekyo Moluddekaayi n’ajjanga mu maaso ga Kabaka.

Read full chapter

Footnotes

  1. 8:1 Mu kiseera ekyo, kabaka yaggyanga ku muntu asaliddwa omusango ogw’okufa ebintu by’omuntu oyo byonna.

(A)Kabaka n’aggyako empeta ye gye yaggya ku Kamani n’agiwa Moluddekaayi, ate era ne Eseza n’afuula Moluddekaayi okuvunaanyizibwa ebintu ebyali ebya Kamani.

Read full chapter

Abayudaaya Bawangula Abalabe Baabwe

15 (A)Awo Moluddekaayi n’ava mu maaso ga Kabaka ng’ayambadde ebyambalo bya Kabaka ebya kaniki n’ebyeru, era ng’atikkiddwa engule ennene eya zaabu, era ng’ayambadde omunagiro ogwa bafuta ennungi n’olugoye olw’effulungu. Ekibuga ekya Susani ne kisanyuka nnyo.

Read full chapter