Add parallel Print Page Options

19 (A)Noolwekyo Kabaka bw’anaasiima, awe ekiragiro, era kiwandiikibwe mu mateeka ga Buperusi ne Bumeedi agatakyuka, nti Vasuti aleme okujja nate mu maaso ga Kabaka Akaswero. Ate n’ekifo kye eky’Obwannabagereka, kiweebwe omukazi omulala amusinga.

Read full chapter

(A)Awo mu biro ebyo Abakaludaaya abamu ne bawawaabira Abayudaaya. (B)Ne bagenda eri Kabaka Nebukadduneeza ne bamugamba nti, “Wangaala, ayi kabaka! 10 (C)Ggwe ayi kabaka otaddewo etteeka, nti omuntu yenna anaawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadinda, n’ekidongo, n’ekkondeere na buli ngeri yonna ey’ebivuga eby’amaloboozi, ateekwa okuvuunama n’asinza ekifaananyi kya zaabu, 11 era buli atalivuunama n’akisinza alisuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro. 12 (D)Naye waliwo abamu ku Bayudaaya be walonda okuvunaanyizibwa ensonga ez’essaza ery’e Babulooni, era be ba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego abatakuwulirirako ddala ayi kabaka. Tebaweereza bakatonda bo newaakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wabumbisa.”

Read full chapter