Add parallel Print Page Options

23 (A)Omusajja gwe mutwe gw’omukazi, nga Kristo bw’ali omutwe gw’Ekkanisa. Ekkanisa gwe mubiri gwa Kristo, era ye yennyini ye Mulokozi waagwo. 24 Kale ng’Ekkanisa bw’ewulira Kristo, n’abakazi bwe batyo bwe basaana okuwuliranga ba bbaabwe mu byonna.

25 (B)Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe nga Kristo bwe yayagala Ekkanisa ne yeewaayo ku lwayo. 26 (C)Yaginaaza n’amazzi, n’agitukuza n’ekigambo kye, 27 (D)alyoke yeefunire Ekkanisa ey’ekitiibwa, eteriiko bbala wadde akamogo oba ekintu kyonna ekikyamu, wabula ebeere entukuvu, etuukiridde.

Read full chapter