Add parallel Print Page Options

12 (A)Nze Magezi, mbeera wamu n’okuteesa okulungi,
    era mu nze mulimu okumanya n’okwawula ekirungi n’ekibi.
13 (B)Okutya Mukama kwe kukyawa ekibi;
    nkyawa amalala n’okwemanya,
    n’obuteeyisa bulungi n’enjogera ey’obubambaavu.
14 (C)Okuteesa okulungi n’okusalawo okw’amagezi bye byange;
    ntegeera era ndi wa buyinza.

Read full chapter