Add parallel Print Page Options

20 (A)Teweegattanga ku abo abeekamirira omwenge,
    n’abalulunkanira ennyama:
21 (B)Kubanga omutamiivu n’omuluvu baavuwala,
    n’okubongoota olutata kubambaza enziina.

Read full chapter

29 Ani alina obuyinike? Ani alina ennaku?
    Ani alina ennyombo? Ani alina okwemulugunya?
    Ani alina ebiwundu eby’obwereere? Ani amyuse amaaso?
30 (A)Abo abatava ku mwenge,
    nga bagenda baloza ku mwenge omutabule.
31 Totunuulira wayini ng’amyuse,
    bw’atemaganira mu ggiraasi
    ng’akka empolampola;
32 ku nkomerero aluma ng’omusota,
    wa busagwa ng’essalambwa.
33 Amaaso go galiraba ebyewuunyo,
    n’omutwe gwo ne gulowooza ebitategeerekeka.
34 Oliba ng’omuntu eyeebase wakati mu nnyanja,
    obanga oyo alengejjera waggulu ku mulongooti.
35 Olyogera nti, “Bankubye, naye sirumiddwa.
    Bankubye naye sirina kye mpuliddemu.
Nnaazuukuka ddi,
    neeyongere okunywa?”

Read full chapter