Add parallel Print Page Options

12 (A)Katonda alaba ebifa mu nnyumba y’omubi,
    era abakozi b’ebibi abazikkiririza ddala.

13 (B)Oyo aziba amatu ge eri okulaajana kw’omwavu,
    naye alikoowoola nga talina amwanukula.

14 (C)Ekirabo ekigabire mu kyama kikakkanya obusungu obungi,
    n’enguzi ebikiddwa mu munagiro eggyawo ekiruyi ekingi.

Read full chapter