Engero 18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ebigambo by’Abagezi n’Abasirusiru
18 Eyeggya ku banne aba yeerowoozako yekka,
era tawuliriza magezi gamuweebwa.
2 (A)Omusirusiru tasanyukira kutegeera,
ky’asanyukira kyokka kwe kwogera by’alowooza.
3 Okukola ekibi bwe kujja n’okunyooma kujjirako,
era awali okuyisaamu omuntu amaaso wabaawo okunyoomoola.
4 Ebigambo by’omu kamwa k’omuntu mazzi ga buziba,
naye ensulo ey’amagezi mugga ogukulukuta.
5 (B)Si kirungi kuttira mubi ku liiso,
oba okusaliriza omutuukirivu.
6 Akamwa k’omusirusiru kamuleetera entalo
era akamwa ke kamuleetera okukubwa emiggo.
7 (C)Akamwa k’omusirusiru ke kamuleetera okuzikirira,
era n’emimwa gye mutego eri emmeeme ye.
8 (D)Ebigambo by’omuntu ageya biri ng’emmere ewoomerera,
bigenda mu bitundu by’omubiri eby’ewala.
9 (E)Omuntu omugayaavu mu mirimu gy’akola,
waluganda n’oyo azikiriza.
10 (F)Erinnya lya Mukama kigo ky’amaanyi,
omutuukirivu addukira omwo n’afuna emirembe.
11 (G)Obugagga bw’omugagga, kye kibuga kye ekiriko bbugwe ow’amaanyi,
era mu kulaba kwe, kigo kye ekigumu ekitarinnyika.
12 (H)Omuntu nga tannagwa, omutima gwe gwegulumiza, naye okwetoowaza kumuweesa ekitiibwa.
13 (I)Oyo addamu amangu mu nsonga gy’ateetegerezza,
buba busirusiru bwe era buswavu.
14 (J)Omwoyo gw’omuntu gumuwanirira mu bulwadde,
naye emmeeme eyennyise ani ayinza okugigumiikiriza?
15 (K)Omutima gw’omwegendereza guyiga okumanya,
amatu g’omuntu omugezi gawuliriza.
16 (L)Ekirabo ky’omuntu kimuseguliza,
era kimutuusa ne mu maaso g’abeekitiibwa.
17 Asooka okweyogerako y’afaanana ng’omutuufu,
okutuusa omulala lw’amubuuza ebibuuzo.
18 (M)Okukuba akalulu kimalawo empaka,
era kisalawo eggoye wakati w’abawakana ab’amaanyi.
19 Kyangu okuwamba ekibuga ekiriko bbugwe ow’amaanyi, okusinga okukomyawo owooluganda anyiize,
era ennyombo ziba ng’empagi z’ekigo.
20 (N)Omuntu anakkutanga ebigambo ebiva mu kamwa ke;
ebibala ebijjula akamwa ke bye binamukkusanga.
21 (O)Olulimi lulina obuyinza okuwa obulamu oba okutta,
era n’abo abalwagala balirya ebibala byalwo.
22 (P)Azuula omukazi omulungi ow’okuwasa aba azudde ekirungi,
era aganja eri Mukama.
23 Omwavu yeegayirira,
naye omugagga addamu na bbogo.
24 (Q)Akwana emikwano emingi yeereetera okuzikirira,
naye wabaawo ow’omukwano akwagala ennyo okusinga owooluganda.
Ordspråksboken 18
Svenska Folkbibeln
18 Enslingen följer sin egen lust,
mot all sund insikt går han till storms.
2 Dåren frågar inte efter förstånd,
han vill bara föra fram egna tankar.
3 Kommer en ogudaktig kommer också förakt,
med skamlig vandel följer vanära.
4 Orden i mannens mun är som djupa vatten,
vishetens källa som en flödande bäck.
5 Det är inte rätt att ta parti för den skyldige
och vränga rätten för den oskyldige.
6 Dårens läppar kommer med kiv,
hans mun tigger om stryk.
7 Dårens mun är hans fördärv,
hans läppar en snara för hans liv.
8 Baktalarens ord är som läckerbitar,
de tränger in i människans inre.
9 Den som är försumlig i sitt arbete
är en broder till rövaren.
10 Herrens namn är ett starkt torn,
den rättfärdige skyndar dit och får skydd.
11 Den rikes ägodelar är hans fasta borg,
lik en hög mur i hans inbillning.
12 Hjärtats högmod går före fall,
ödmjukhet föregår ära.
13 Den som svarar innan han lyssnat,
handlar dåraktigt och skamligt.
14 Mod håller mannen uppe i hans svaghet,
men vem orkar bära ett brutet mod?
15 Den förståndiges hjärta förvärvar kunskap,
och de visas öron söker kunskap.
16 En gåva öppnar vägen för en människa
och för henne fram inför de stora.
17 Den som först för sin talan tycks ha rätt,
till dess hans motpart kommer och prövar saken.
18 Lotten stillar trätor
och skiljer mellan mäktiga män.
19 En kränkt broder är svårare att vinna än en befäst stad,
trätor är som bommar för en borg.
20 Av sin muns frukt blir var och en mättad,
buken fylls av läpparnas skörd.
21 Tungan har makt över död och liv,
de som gärna brukar den får äta dess frukt.
22 Den som funnit en hustru har funnit något gott,
han har fått nåd ifrån Herren.
23 Den fattige tigger om nåd,
den rike svarar med hårda ord.
24 Vänner kan slita varandra i stycken,
men det finns en vän som är mer hängiven än en bror.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
1996, 1998 by Stiftelsen Svenska Folkbibeln