Añadir traducción en paralelo Imprimir Opciones de la página

23 Bw’otuulanga okulya n’omufuzi,
    weetegerezanga ebiri mu maaso go;
era weegendereze
    bw’obanga omanyi ng’olulunkanira ebyokulya.
(A)Tolulunkanira mmere ye ennungi,
    kubanga erimbalimba.

Teweemalangako mirembe ng’oyaayaanira obugagga;
    weefuge obeere mukkakkamu.
(B)Eby’obugagga obikubako eriiso limu nga by’agenze dda,
    kubanga ddala bimera ebiwaawaatiro
    ne bibuuka mu bbanga ng’empungu.

(C)Tolyanga mmere ya muntu mukodo,
    wadde okwegomba ebirungi by’alya.
Kubanga ye muntu
    abalirira ensimbi z’asaasaanyizza,
    n’akugamba nti, “Weeriire, weenywere,”
    naye ng’omutima gwe tegukusanyukira.
Akatono k’onooba olidde onookasesema,
    ebigambo byo ebirungi eby’okwebaza bibe bya bwereere.

(D)Totegana kubuulirira musirusiru,
    kubanga ajja kunyooma ebigambo byo eby’amagezi.

10 (E)Tojjululanga nsalo ey’edda,
    so toyingiriranga nnimiro za bamulekwa,
11 (F)kubanga abalwanirira w’amaanyi,
    alikuggulako omusango.

12 Ossangayo omwoyo eri okuyigirizibwa,
    n’amatu go eri ebigambo by’okutegeera.

13 Tolekangayo kukangavvula mwana,
    bw’omubonereza n’akaggo tekimutta.
14 Mubonerezenga n’akaggo,
    kiwonye emmeeme ye okufa.

15 Mwana wange, bw’oba n’omutima ogw’amagezi,
    kinsanyusa.
16 (G)Nnaajjaguzanga okuva ku ntobo y’omutima gwange,
    bw’onooyogeranga ebituufu.

17 (H)Omutima gwo gulemenga okukwatirwa aboonoonyi obuggya,
    kyokka nyiikira okutya Mukama ebbanga lyonna.
18 (I)Mazima ddala onoobanga n’essuubi mu biseera eby’omu maaso,
    n’essuubi lyo eryo teririggwaawo.

19 Mwana wange wulirizanga, obeerenga n’amagezi,
    okumenga omutima gwo mu kkubo ettuufu.
20 (J)Teweegattanga ku abo abeekamirira omwenge,
    n’abalulunkanira ennyama:
21 (K)Kubanga omutamiivu n’omuluvu baavuwala,
    n’okubongoota olutata kubambaza enziina.

22 (L)Wulirizanga kitaawo eyakuzaala,
    so togayanga nnyoko ng’akaddiye.
23 (M)Gula amazima so togatunda,
    ffuna amagezi, n’okuyigirizibwa n’okutegeera.
24 (N)Kitaawe w’omutuukirivu alina essanyu lingi,
    n’oyo azaala omwana ow’amagezi amwenyumiririzaamu.
25 Leka kitaawo ne nnyoko basanyuke,
    omukazi eyakuzaala ajaguzenga.

26 (O)Mwana wange mpa omutima gwo,
    n’amaaso go geekalirize amakubo gange,
27 (P)kubanga omukazi omwenzi lukonko luwanvu,
    n’omukazi omubambaavu luzzi lufunda.
28 (Q)Ateega ng’omutemu,
    n’ayongera ku muwendo gw’abasajja abatali beesigwa eri bakazi baabwe.

29 Ani alina obuyinike? Ani alina ennaku?
    Ani alina ennyombo? Ani alina okwemulugunya?
    Ani alina ebiwundu eby’obwereere? Ani amyuse amaaso?
30 (R)Abo abatava ku mwenge,
    nga bagenda baloza ku mwenge omutabule.
31 Totunuulira wayini ng’amyuse,
    bw’atemaganira mu ggiraasi
    ng’akka empolampola;
32 ku nkomerero aluma ng’omusota,
    wa busagwa ng’essalambwa.
33 Amaaso go galiraba ebyewuunyo,
    n’omutwe gwo ne gulowooza ebitategeerekeka.
34 Oliba ng’omuntu eyeebase wakati mu nnyanja,
    obanga oyo alengejjera waggulu ku mulongooti.
35 Olyogera nti, “Bankubye, naye sirumiddwa.
    Bankubye naye sirina kye mpuliddemu.
Nnaazuukuka ddi,
    neeyongere okunywa?”

Saying 7

23 When you sit to dine with a ruler,
    note well what[a] is before you,
and put a knife to your throat
    if you are given to gluttony.
Do not crave his delicacies,(A)
    for that food is deceptive.

Saying 8

Do not wear yourself out to get rich;
    do not trust your own cleverness.
Cast but a glance at riches, and they are gone,(B)
    for they will surely sprout wings
    and fly off to the sky like an eagle.(C)

Saying 9

Do not eat the food of a begrudging host,
    do not crave his delicacies;(D)
for he is the kind of person
    who is always thinking about the cost.[b]
“Eat and drink,” he says to you,
    but his heart is not with you.
You will vomit up the little you have eaten
    and will have wasted your compliments.

Saying 10

Do not speak to fools,
    for they will scorn your prudent words.(E)

Saying 11

10 Do not move an ancient boundary stone(F)
    or encroach on the fields of the fatherless,
11 for their Defender(G) is strong;(H)
    he will take up their case against you.(I)

Saying 12

12 Apply your heart to instruction(J)
    and your ears to words of knowledge.

Saying 13

13 Do not withhold discipline from a child;
    if you punish them with the rod, they will not die.
14 Punish them with the rod
    and save them from death.(K)

Saying 14

15 My son, if your heart is wise,
    then my heart will be glad indeed;
16 my inmost being will rejoice
    when your lips speak what is right.(L)

Saying 15

17 Do not let your heart envy(M) sinners,
    but always be zealous for the fear of the Lord.
18 There is surely a future hope for you,
    and your hope will not be cut off.(N)

Saying 16

19 Listen, my son,(O) and be wise,
    and set your heart on the right path:
20 Do not join those who drink too much wine(P)
    or gorge themselves on meat,
21 for drunkards and gluttons become poor,(Q)
    and drowsiness clothes them in rags.

Saying 17

22 Listen to your father, who gave you life,
    and do not despise your mother when she is old.(R)
23 Buy the truth and do not sell it—
    wisdom, instruction and insight as well.(S)
24 The father of a righteous child has great joy;
    a man who fathers a wise son rejoices in him.(T)
25 May your father and mother rejoice;
    may she who gave you birth be joyful!(U)

Saying 18

26 My son,(V) give me your heart
    and let your eyes delight in my ways,(W)
27 for an adulterous woman is a deep pit,(X)
    and a wayward wife is a narrow well.
28 Like a bandit she lies in wait(Y)
    and multiplies the unfaithful among men.

Saying 19

29 Who has woe? Who has sorrow?
    Who has strife? Who has complaints?
    Who has needless bruises? Who has bloodshot eyes?
30 Those who linger over wine,(Z)
    who go to sample bowls of mixed wine.
31 Do not gaze at wine when it is red,
    when it sparkles in the cup,
    when it goes down smoothly!
32 In the end it bites like a snake
    and poisons like a viper.
33 Your eyes will see strange sights,
    and your mind will imagine confusing things.
34 You will be like one sleeping on the high seas,
    lying on top of the rigging.
35 “They hit me,” you will say, “but I’m not hurt!
    They beat me, but I don’t feel it!
When will I wake up
    so I can find another drink?”(AA)

Notas al pie

  1. Proverbs 23:1 Or who
  2. Proverbs 23:7 Or for as he thinks within himself, / so he is; or for as he puts on a feast, / so he is